
OMUKUGU mu kunoonyereza ku byafaayo n’ebyobufuzi alaze Pulezidenti Museveni gy’avudde ne Gen. Kale Kayihura. Emboozi eno yasoose kufulumira mu Sunday Vision. AMAANYI, ettutumu n’obuganzi Gen. Edward Kale Kayihura by’abadde nabyo bangi balowooza nti abifunye mu myaka 13 gy’amaze ng’aduumira Poliisi! Ekyo si kituufu, Kayihura obuganzi bwe eri Museveni bw’aviira ddala mu nsiko mu lutalo lw’ekiyeekera. Yali musajja muwulize, mugezi ekyenjawulo ate omumalirivu. Nga yaakeegatta ku lutalo, Kayihura yasooka kuganja lwa nsonga bbiri. lEsooka yali ya kitaawe John Kale eyalwana ennyo Uganda okufuna obwetwaze kyokka eby’embi n’afa ng’ekirooto kye tekinnatuukirira. Yafiira mu kabenje k’ennyonyi nga August, 17 1960. Yali ne basaabaze banne 33 mu nnyonyi y’ekika kya Illyushin 11- 18ccp 75705, eyali eva e Misiri ng’edda e Russia bwe yagwa mu kibira n’esaanawo. Yagwa mu bitundu by’e Tarasovisch, Kiev mu Ukraine n’ekwata omuliro. Obumalirivu bwa taata wa Kayihira bwakwata nnyo ku Museveni ng’alina essuubi nti ne mutabani we (Kayihura) ajja kuba atyo. lEnsonga eyookubiri yali ya Kayihura butafuuwa segereeti n’okugaaya enjaga! Emize egyo Museveni yali tagyagalira ddala. Yatuuzanga enkiiko z’abayeekera be n’abalabula obuteesembereza njaga na ssegereeti. Yadde Museveni yali takolagana na banywi ba njaga, bangi ku bayeekera baali bagikozesa era lumu yalabula okufiira ku muntu gw’anaasanga ng’agikozesa era abamu ku baali bagikozesa ne bafuguma! Ku bano kwaliko Herbert Itongwa, Drago Nyanzi n’abalala. Mu misoni ezimu Museveni ze yamutumako kata emu agigulemu obulamu bwe yajja mu Kampala okubaako obubaka bw’akima ku munnabyabufuzi omu. Bwe yamaliriza kwe kugulayo ekyennyanja era aba akifumba basajja ba Obote ne bakitegeera. Baakuba ebikompola we yali afumbira n’asimattuka n’ebinuubule ku mikono by’akyalina n’okutuusa kati oluvannyuuma lw’ekisosonkole ky’essasi okumukuba. Yadduka ekiwummulo mu nsiko n’abiyitiramu mukamawe naye n’amukulisa! AMUWA AMAANYI MU POLIISI Ng’abayeekera bamaze okuwamba mu 1986, Museveni yatuma Kayihura mu bifo ebyenjawulo okutuusa lwe yamuwa okukulira Poliisi mu October wa 2005. Yaddira Gen. Katumba Wamala mu bigere. Obukozi bwe yalina mu magye yagenda nabwo mu Poliisi ng’azuukuka ssaawa 12:30 nga bukya ate ne yeebaka mukaaga ez’ekiro. Mu ofiisi ng’asooka kusisinkana Amos Ngabirano eyali avunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu Poliisi. Bwe zaaweranga ssaawa bbiri ez’ekiro, Kayihura ng’atandika okukubira abantu abaali bamubegera ebigenda mu maaso mu ggwanga okubasisinkana. Yabasisinkananga kiro ng’akozesa essimu ya layini ya Africell. Mu bano mwalingamu ne bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya Gavumenti. Buli kye yasabanga okuva ewa Pulezidenti nga kimuweebwa era yatandikira ku nnyonyi. Museveni yalagira eyali akulira amagye ebiseera ebyo Gen. Aronda Nyakayirima okumuwa ennyonyi ya Namukanga erimu ekiba ekya bbululu emwanguyize emirimu. Poliisi bwe yagula ennyonyi zaayo eno n’agizzaayo mu magye. Ekiseera kyatuuka nga kifuuse kya lwatu nti Kayihura ewa Museveni takonkona olwo n’atandika naye okulagako abalala amaanyi g’alina. For more #AGOMUMPAPULA Click here -https://www.youtube.com/playlist?list... 🔥Stay updated! 🔔 Subscribe Now 🔥 https://www.youtube.com/c/trendinguganda 🔥
Engeri Museveni gye yawa Gen. Kale Kayihura amaanyi || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 6 Likes | 6 Dislikes |
| 1,169 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 25 Jun 2018 |
trending ugandan gospel music
trending ugandan mp3 songs
trending uganda music 2018
trending ugandan movies
trending ugandan celebrity news
trending uganda inside story
trending ugandan videos
trending ugandan artists
trending ugandan gospel songs
trending ugandan gossip
trending ugandan music 2019
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan music 2018
trending uganda youtube channel
trending ugandan songs 2018
trending uganda youtube
trending ugandan music this week
trending ugandan hairstyles
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét