
ENGERI bambega b’ekitongole kya ISO gye baaluseemu misoni ne bazinduukiriza kkampuni ya MTN ne bawamba ebyuma okuterekebwa bwiino w’amasimu agakubwa abantu ne bakwatiramu ne yinginiya waabwe ewuniikiriza! Ekitongole ky’ebyokwerinda okufuna bwiino yenna okuva mu kkampuni y’amasimu yonna, kiteekwa okusaba mu butongole oba okufuna ekiragiro kya kkooti. Olw’obunene bw’ensonga ISO n’ebitongole by’ebyokwerinda byonna gye biriko, baasazeewo okumenya amateeka ne balumba nga tebasabye lukusa wadde okufuna ekiwandiiko kya kkooti. Ensonda mu ISO zaatutegeezezza nti, ‘‘Tuba kugamba nti tubasabe olukusa, bye twabadde twetaaga twabadde tetujja kubifuna. Bamafi ya bali buli wamu okutta buli kasuwa ke twagala okweyambisa okunyweza abatemu’’ Abajaasi bana baalumbye ofi isi za MTN e Nakasero ne bakwata Moses Keefah Musaasizi, maneja w’ebifo aba MTN we batereka bwiino w’amasimu agakubwa abantu abali ku mukutu guno n’agabakubirwa. Okusinziira ku ba MTN, Musaasizi akolera wansi wa kkampuni MTN gye yapangisa okugiyamba ku bya ddata eya Huawei Uganda. Ono y’avunaanyizibwa ku bwiino yenna ne gye bamutereka. Mu Bukedde w’eggulo, twakulaze ISO bwe yakutte yinginiya wa kkampuni y’amasimu emu ku by’okutta obujulizi obuluma ba ofi isa ba poliisi mu musango gw’okutta eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi. Okusinziira ku nsonda, kye baakoze kye kyabadde kyetaagisa kubanga ebbanga ddene eriyise bukya Kaweesi attibwa bwiino asinga gwe beetaaga tebamulina ate nga mukulu nnyo. Baatutte ebyuma bina ebitereka bwiino akwatagana ku masimu g’abantu abali ku mukutu gwa MTN. Ensonda zirumiriza nti, nga March 17, 2017 layini ya Kaweesi 0776397793, layini y’omu ku boofi isa ba poliisi eyali akulira ekitongole kya poliisi ekimu n’omu ku baali abanene ba poliisi, bwiino yenna yasimulwaako ku ssaawa 6:00 zennyini ez’emisana. Bwe baazinze aba MTN, ebyuma ebyatwaliddwa kiteeberezebwa nti, bye byali bikozesebwa okutereka bwiino mu kiseera we battira Kaweesi kyokka aba SFC kigambibwa nti baagendayo nga baagala bwiino ku ssimu ssatu nga yenna yasiimuddwa. ISO okulumba ekifo kya MTN e Mutundwe, yabadde yeetaaga okutwala ebyuma bino bakozese tekinologiya okuddamu okuzimba bwiino eyasangulwa yenna. “Twafuna bwiino omu okuva e South Afrika naye kya bbeeyi nnyo okumuggyayo ate waliwo omulala gwe tutaasobola kufuna olwa bbeeyi.” Omu ku bakola ku fayiro ya Kaweesi empya bwe yategeezezza. ABA MTN BADDUKIDDE MU UCC EBATAASE Ku Lwokubiri nga July 3, 2018 akola ng’akulira kkampuni ya MTN, Anthony Katamba yawandiikidde dayirekita w’ekitongole ekirung’amya eby’empuliziganya mu ggwanga ekya ‘‘Uganda Communications Commission’’. (UCC). Mu bbaluwa ey’emiko ebiri Katamba yagambye nti, ISO okulumba ekifo kyabwe e Mutundwe yakikoze mu bumenyi bw’amateeka kubanga tewali kye baali babasabye nga bayita mu makubo amatuufu ne batakibawa. Agattako nti, Musaasizi baamukwata ne bamutwala ku ofi isi za ISO e Nakasero okutuuka ku ssaawa 3:00 ez’ekiro oluvannyuma ne bamutwala e Mutundwe ne bamuwaliriza okuggulawo ne bamukaka okuggyako ebyuma bina kwe batereka bwiino ne bagenda nabyo era byonna byakwatibwa ku CCTV kkamera. Yagasseeko nti, ebyuma ebyatwaliddwa byabakosezza mu nkung’aanya ya bwiino ku masimu agakubwa n’okwemulugunya kwa bakasitoma baabwe. Okukung’aanya ebintu ebiba byetaagisa ku nkola zaabwe ez’enjawulo ze baguza bakasitoma baabwe n’okukung’aanya ebyetaagisa mu lipooti z’eby’ensimbi. BAAGALA POLIISI ENOONYEREZE N’OKUBAWA OBUKUUMI Oluvannyuma lw’okukakasa ebintu ebyabadde bitwaliddwa, bagguddewo omusango ku poliisi enoonyereze ku ngeri aba ISO gye baayingidde mu kifo kyabwe nga tebaweereddwa lukusa ate ne batwala ebyuma byabwe eby’omugaso ennyo. Baagala poliisi ebawe n’obukuumi ku bifo we batereka bwiino w’amasimu okuli Poloti 451 Wasswa Road e Mutundwe ne Poloti 77 Port Bell Road, Mbuya mu Municipaali y’e Nakawa. Katamba mu bbaluwa ye eri akulira UCC, Godfrey Mutabazi yagambye nti, ensonga baazituusizza ewa minisita w’obutebenkevu Gen. Elly Tumwine ne Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda mu bigambo era oluvannyuma Musaasizi n’ayimbulwa. EYASANGULA BWIINO BAMWETAAGA Bambega baakizudde nti, waliwo omuntu omu eyaweebwa ssente okusangula bwiino yenna era balumiriza nti, omuntu ono yandiba nga yamanya ku lukwe lw’okutta Kaweesi. “Twetaaga okumanya eyasangula bwiino ono era yali afuniramu wa, ani yamutuma, baamuwa mmeka.” Ensonda bwe zaategeezezza. Waliwo abakozi abawerako mu kkampuni eno abali mu kunoonyerezebwako nga kigambibwa nti bandiba ng’omu ku bbo gwe beetaaga. For more #BINSANGAWANO click here https://www.youtube.com/playlist?list...
ENGERI bambega ba ISO gye bakutte yinginiya wa MTN ku bya Kaweesi || BINSANGAWANO - YouTube |
| 4 Likes | 4 Dislikes |
| 2,079 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 9 Jul 2018 |
trending ugandan videos
trending ugandan music 2018
trending uganda youtube
trending ugandan movies
trending ugandan songs 2018
trending ugandan entertainment news
trending ugandan celebrity news
trending uganda youtube channel
trending ugandan gospel music
trending ugandan music this week
trending uganda music 2018
trending ugandan artists
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music
trending ugandan gospel songs
trending ugandan gossip
trending ugandan hairstyles
trending uganda inside story
trending ugandan music 2019
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét