
EMBEERA mu malwaliro ga Gavumenti eyongedde okukaluba olw’akeediimo k’abasawo abassizza wansi ebikola nga baagala Gavumenti esooke okulongoosa embeera mwe bakolera, okubongeza omusaala n’okubawa ensako. Ku ddwaaliro Ekkulu e Mulago, badokita tebaalabise ku mulimu, ate n’abatono abaabaddeyo nga bakola kw’abo bokka abaleeteddwa nga bayi nnyo. Erivaniya Kyawusiku ow’e Kirungi e Mubende yabadde azze kufuna bujjanjabi ku waadi ya kookolo teyabufunye ate ng’ayonoonye obusente bwonna bwe yabadde nabwo mu ntambula. Eddwaaliro ly’e Kawempe abalwadde baasazeewo kudda waka nga bakukkuluma wabula waadi y’abakyala abazaala yabaddemu abasawo abakola kw’abo bokka abazze nga bali bubi ddala. Eddwaaliro ly’e Kiruddu abalwadde tebaabaddeyo ng’abamu bagamba nti, baabadde bagenzeeyo ku Lwokubiri ne babagoba nga babategeeza nti bakomewo ng’akeediimo kawedde. Joan Mirembe eyabadde agenzeeyo okufuna obujjanjabi yategeezezza nti abalwadde baasobeddwa kubanga n’obulwaliro obw’obwannannyini bukozesezza embeera eno okwongeza ebisale ku bujjanjabi n’eddagala. Eddwaaliro lya KCCA mu Kisenyi yo abasawo baakoze nga bagamba nti baabadde tebayinza kuleka bantu kufa wabula abamu ku balwadde ne bategeeza nti ekizibu kya baasanzeeyo ly’ebbula ly’eddagala n’obungi bw’abalwadde obweyongedde omuli n’abo abaavudde e Mulago ne mu malwaliro amalala. Rose Nakiyingi ow’e Kasanje mu Wakiso yategeezezza nti mu kitundu kye amalwaliro agamuli okumpi gonna abasawo tebaabaddeyo kwe kusalawo okugenda mu Kisenyi. Omulwadde Raymond Ssempijja eyasangiddwa ku ddwaaliro e Kitebi yeemulugunyizza ku basawo abali ku keediimo n’agamba nti: Kigasa ki okusigala eka n'otakola ku balwadde ng'eno abaleetebwa bafa ate nga wasoma omulimu gw'okujjanjaba n'olayira nti ojja kukola omulimu ogwo mu buli mbeera okusobola okutaasa obulamu! Eddwaliro ly’e Kaliisizo mu Kyotera ekifo awatuukirwa abalwadde abava ebweru baakiggadde. Waadi z’abakyala n’abaana nazo zaakoseddwa. Daphine Florence Nalwadda yaasangiddwa mu ddwaaliro lino ng’apooca ne wuzzi ezaamutungibwa oluvannyuma lw’okutemwatemwa bba Dan Ssonko omwezi mulamba oguyise ng’amulanga bwenzi kyokka okuva akeediimo lwe kaatandise, obujjanjabi ne buyimirira. GAVUMENTI ERAZE BY’EGENDA OKUKOLA: 1 Minisita w’ebyobulamu, Jane Ruth Acheng eggulo yafulumizza ekiwandiiko n’ategeeza nti gavumenti egenda kusasula ensako y’abasawo abali mu kugezesebwa (Interns) ya 960,000/- buli omu so si 740,000/- nga bwe zaali zisaliddwa. 2 Abasawo abaddayo okusoma diguli eyookubiri baakusasulwa ensako ku mirimu gye bakola nga bali mu kusoma oluvannyuma lw’okubeetegereza. 3 Okulinda ennongoosereza ekolebwa mu misaala gy’abakozi ba Gavumenti bonna egenda okufulumizibwa ku nkomerero y’omwezi guno kubanga yaakulambika n’emisaala gy’abasawo. Yasabye abasawo badde ku mulimu nga bwe balinda bino. Kyokka omwogezi w’ekibiina ekigatta abasawo Dr. Faul Kavuma yategeezezza Bukedde nti bo beetegefu okugumiikiriza ennongoosereza ekolebwe kubanga ebuzaayo ebbanga eritaweza mwezi gumu. Baasaba okulongoosa embeera mwe bakolera ng’okuteeka eddagala mu malwaliro ne ggiraavuzi minisita by’ataayogeddeko era baagala nabyo birowoozebweko.
Embeera mu malwaliro ekalubye - Ebibadde mu Ggwanga - YouTube |
| 3 Likes | 3 Dislikes |
| 508 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 9 Nov 2017 |
trending ugandan music 2019
trending ugandan movies
trending uganda youtube channel
trending ugandan music
trending ugandan artists
trending ugandan gossip
trending uganda youtube
trending uganda music 2018
trending ugandan gospel music
trending uganda inside story
trending ugandan music 2018
trending ugandan celebrity news
trending ugandan videos
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan songs 2018
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan entertainment news
trending ugandan hairstyles
trending ugandan music this week
trending ugandan gospel songs
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét