
EBIZUUSE mu kunoonyereza ku kuwambibwa n’okuttibwa kwa Susan Magara biraga nti enneeyisa ye ng’omuwala omuto omucakaze byandiba nga byawa abatemu oluwenda n’enkizo. Kigambibwa nti Magara abadde muwala wa kinyumo nga tava mu kucakala ate nga muganzi eri kitaawe, nga kiyinzika okuba nga y’ensonga lwaki mu famire yonna abatemu gwe baalondamu okuwamba. Engeri gy’abadde omukazi omusanyufu era nga mwerufu mu buli ky’akola naddala bw’aba asisinkanye mikwano gye, kiteeberezebwa nti Magara yandiba ng’aliko omu ku mikwano gye gwe yabbirako ku kyama nti kitaawe alina obutitimbe bwa ssente ku akawunti ye ezitudde obutuuzi ne kivaako abatemu okumuwamba okusobola okwenogera ku ssente zino. Kyokka era kiteeberezebwa nti amawulire agakwata ku ssente kitaawe ze yalina ku akawunti gayinza okuba nga gaaweebwayo omuntu mu emu ku bbanka mw’alina akawunti okuli ssente enkumu era ng’ezimu ziyinza okuba nga zaali zaakagendako. Okwogera kuno nakuli ekituusa n’abantu abamu okwogera ebyama byabwe mu butali bugenderevu. Wabula abamanyi Magara bagamba nti embeera eringa eno emutuukirako bulungi. Ku lunaku Magara lwe yasabirwa e Mbuya, Pulezidenti Museveni ng’ayita ku mutimbagano gwa yintanenti ogwa ‘Twitter’, yakubiriza abavubuka naddala abaana abawala okwewala ebikolwa eby’obuseegu wamu n’okukozesa ebiragalalagala n’okwesiwa obugonja ng’agamba nti bino bisobola okubaviirako okugwa mu buzibu singa tebabyewala. Ebigambo bya Pulezidenti abamu batuuka n’okubitaputa nti oba okubyogera yali asinzidde ku byali bimugambiddwa bambega be nti omuwala Magara, yali mucakaze! Bino webijjidde nga ab’ebyokwerinda bakyanoonyereza ku batemu abatta Magara mu ntiisa era waliwo n’abantu abazze bakwatibwa n’okubuuzibwa akana n’akataano ku nsonga zino. Abatemu abaawamba Magara baasooka kupeeka kitaawe abawe akakadde ka ddoola kamu, nga mu za Uganda obuwumbi 3 n’obukadde 600. Kigambibwa nti famire yawa abatemu obukadde 700, kyokka nga n’okutuusa kati, waliwo okutankana ku ngeri ssente zino gye zatuusibwa ku batemu, eyazibatuusaako, weyazibakwasiza n’ensonga lwaki ate baamala ne bagenda mu maaso n’okutta Magara ate nga baweereddwa ssente. Kino kireeseewo n’endowooza nti abamu ku baserikale abaali banoonyereza bandiba nga be baali basaba ssente zino era nga kati olunwe lusongeddwa ku bantu okuli Cyrus, Moses, n’abalala. Magara yabuzibwawo nga February 7, 2018 bwe yali ava ku mulimu ng’adda awaka kyokka omulambo gwe ne guzuulibwa nga February 24, 2018 nga gusuuliddwa okumpi n’oluguudo lwa Entebe Expressway, e Kirongo-Bitiko, mu tawuni kanso y’e Kajjansi. Ebyo nga bikyali awo ebizuuse ku mugagga w’e South Afrika agambibwa okuba nga yali mu lukwe lw’okuwamba n’okutemula omuwala Susan Magara, biraga nti eno si ye diiru gy’asoose okukutula. Ensonda enneekusifu zitegeezezza Bukedde nti, omugagga ono eyategeerekeseeko erya Agaba, kigambibwa nti okutandika okubeera e South Afrika, yamala kunoonyezebwa baabyakwerinda ku bigambibwa nti yaliko omuwala gwe yali awambye. Agaba kigambibwa nti si musajja mwangu. “Nze mujjukirako kimu kya kwewamba ssente z’obupangisa bwe zaali zimubuze! Abooluganda lwe yabateeka ku bunkenke kyokka oluvannyuma ne kizuuka nti ye yali yeewambye n’ekigendererwa ky’okutwaliriza obudde ng’eno bw’anoonya ssente ezaali zimubanjibwa,” Bwatyo omu ku bamanyi omugagga bw’annyonnyola.
Ebyongedde okuzuuka ku kufa kwa Susan Magara biibino || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 34 Likes | 34 Dislikes |
| 15,007 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 14 Mar 2018 |
trending ugandan music this week
trending ugandan videos
trending uganda inside story
trending ugandan artists
trending ugandan songs 2018
trending ugandan music 2018
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan gospel songs
trending ugandan entertainment news
trending ugandan gossip
trending ugandan music 2019
trending ugandan celebrity news
trending uganda music 2018
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music
trending ugandan movies
trending uganda youtube
trending ugandan gospel music
trending uganda youtube channel
trending ugandan hairstyles
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét