
PLEASE share & Subscribe For more Click here - https://www.youtube.com/playlist?list... 🔥Stay updated! 🔔 Subscribe Now 🔥 https://www.youtube.com/c/trendinguganda 🔥 EYAKWATA abasajja abaali bayoola omusaayi we battira Kaweesi avuddeyo n’ategeeza nti abaamutta abamanyi. Era baamutomera mu bugenderevu babuze obujulizi. Moses Agaba, akola mu ISO, ye yakwata omukuumi wa Jonathan Baroza, Judas Tadeo n’omuserikale omulala nga bayoola omusaayi mu kifo we battira Kaweesi, e Kulambiro. “Abatta Kaweesi mbamanyi, abakulu nabagamba ne batasooka kukitwala ng’ekikulu, ndaajanidde pulezidenti ebbanga nga tewali kikolebwa. Nagezaako n’okugenda mulabe nenemmesebwa kati baagala kunzita.” Agaba bwe yagambye. Tadeo ne munne, be baavaako abeebyokwerinda okukizuula nti, olukwe lw’okutta Kaweesi, lwandiba nga lwali lulukiddwa kuva mu poliisi munda wadde kyasooka kuzibuwala okufuna amannya g’abaserikale abeenyigira mu butemu buno okutuusa ISO lwe yakwata Rasta. Agaba bwe yakwata Tadeo ne munne, yakubira Gen. Kale Kayihura eyali omuduumizi wa poliisi mu kiseera ekyo n’alagiraabakwase AIGP Fred Yiga eyaguli mu mitambo. Wabula bwe yali tannabawaayo, abakwate baamutegeeza nti omuyambi wa Kayihura, Jonathan Baroza ye yali abatumye omusaayi era Tadeo n’amugamba nti yali mukuumi wa Baroza n’amulaga kkaadi ye eya poliisi n’emmundu. Okuva awo, Agaba yatandika okulondoola akakwate wakati wa Baroza n’okuttibwa kwa Kaweesi. Agamba nti, okuva lwe yagwa mu lukwe luno, yatandika okufuna abamulondoola okutuusa lwe baamufuna nga December 22, 2017 ku lw’e Masaka bamuttire mu kabenje. Agaba alumiriza nti, okutta Kaweesi, olukwe lwalimu abanene mu poliisi be yazuula, naye kikyali kizibu okubakwata era agamba nti, yeewuunya nnyo okulaba nga poliisi etutte abantu abakyamu mu kkooti nti be batta Kaweesi. BAMPANGIRA AKABENJE Agaba twamusanze mu kifo ekimu mu Kampala, waasula kati oluvannyuma lw’okudduka mu maka ge n’atutegeeza nti, ku ssaawa 3:00 ez’oku makya ng’agenda mu kyalo gye yali agenda okuliira Ssekukkulu, yali mu mmotoka ye Toyota Mark II, UAQ 927U, n’atomerwaIsuzu Forward UAY 344C. Yagambye nti, mmotoka yali evugibwa Yasin Kawooya wabula mu kunoonyereza kwa poliisi, yakwata Emma Kalungi ataamanya na ku kabenje, gwe yatwala mu kkooti e Mpigi n’ayimbulwa ku kakalu ka kkooti ka bukadde butaano. “Omuntu eyantomera yali mulala, nali ku kitanda poliisi n’ejja n’ehhamba nti ekutte Kalungi era bamutwala mu kkooti. Nalabira ddala nga byonna ebyantuukako byali bipange,” Agaba bwe yategeezezza. Yagasseeko nti, ng’ali ku kitanda, yakolagana ne banne bwe bali mu byokwerinda ne bayigga Kawooya ne bamukwatira e Buddo, ne bamukwasa poliisi e Mpigi n’akkiriza nti kituufu ye yali atomedde Agaba kyokka teyayogera ani yali amutumye. Oluvannyuma, poliisi yatwala Kawooya mu kkooti omulamuzi n’abalagira okunoonya Kalungi gwe baali basoose okutwalayo n’ategeeza nti, Kalungi yali amumanyi era ye yali avuga emmotoka eyatomera omuntu. ABATEMU BANNUMBA MU DDWAALIRO; Okusinziira ku Agaba, bwe yasimattuka akabenje yatwalibwa mu ddwaaliro e Nsambya gye baamuwa ekitanda. “Waliwo abantu abajja nga babuuza amannya gange, naliko kalifoomu saasobola kutegeera baani kyokka nagenda okuzuukuka nga bansazeeko enviiri. Nabuuza abasawo n’abaali banzijjanjaba ne babyegaana, saalina kisago kyonna ku mutwe nti bazisalzeeko kunzjjanjaba nokutuusa kati, simanyi yakikola na kye yali azeetaaza.” Agaba bwe yategeezezza. Yagambye nti, yasaba bamusiibule nga tannawona. ng’akizudde nti obulamu bwe buli mu matigga, eddwaaliro lirina abakuumi wabula tebalina muntu gwe baasobola kutegeera ku baali babuuliriza ku Agaba. Agamba nti yagenda ku CORSU e Kisubi ku lw’e Ntebe adduke abamulondoola nayo ne bamulumbayo. “Ku kitanda ku Corsu, nafuna essimu ng’omuntu antegeeza nti, waliwo abanonndoola baagala ku nzita era essaawa yonna mbeere mwegendereza,” Agaba bwe yagambye. Yagasseeko nti, nga March 28, 2018, waliwo omusajja muliraanwa wa nnyina e Kibuli, Innocent Turyamureeba abasajja baamukwata ne bamuteeka mu mmotoka nga bamusibye akatambaala ku maaso ne bamutwala e Wankulukuku gye baamutulugunyiriza nga bamugamba ayogere Agaba gyali. Yagambye nti, baggulawo omusango ku poliisi y’e Muyenga ku fayiro SD08/28/03/2018 wabula terina kye yali ekozeewo ku bantu abaali bawambye Turyamureeba. Yagambye nti, yakubira abanene mu poliisi ne bamusuubiza nti bagenda kunoonya abaagala okumutta wabula n’okutuusa kati, tebalina kye baali bakozeewo
Eby'okutta Kaweesi biranze bizingiddemu maneja wa galagi Mbega aleese bwiino || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 16 Likes | 16 Dislikes |
| 4,323 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 6 Jun 2018 |
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan artists
trending ugandan music this week
trending ugandan gospel songs
trending ugandan music
trending ugandan gospel music
trending ugandan celebrity news
trending uganda inside story
trending ugandan songs 2018
trending uganda youtube channel
trending ugandan gossip
trending uganda music 2018
trending ugandan entertainment news
trending ugandan hairstyles
trending ugandan music 2019
trending uganda youtube
trending ugandan movies
trending ugandan music 2018
trending ugandan videos
trending ugandan mp3 songs
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét