
OMUBAKA Betty Nambooze Bakireke (Mukono munisipaali), asuubirwa okusitula leero okugenda e Buyindi okuddamu okumulongoosa omugongo abasawo gwe baakebedde ne bakizuula nti gwetaaga obujjanjabi obw’amangu. Bba Henry Bakireke yategeezezza nti agenda kulinnya ennyonyi ku ssaawa 5:00 ez’oku makya. Yagambye nti ebbaluwa etambuza omulwadde ku nnyonyi ebadde emusibye yakoleddwaako n’enteekateeka y’abasawo e Buyindi nayo yamaliriziddwa. “Okumulongoosa kugenda kusalibwawo dokita. Naye okusinziira ku mbeera y’omulwadde nsuubira bwe banaddamu okumukebera bagenda kumulongoosa kubanga abadde talina bujanjabi bwe bamuwa okuggyako amakerenda agakendeeza obulumi”, Bakireke bwe yategeezezza. Nambooze yakkirizibwa poliisi okugenda e Buyindi ku kakalu kaayo kyokka n’emuwa okutuuka nga July 29 omwaka guno okuddayo yeeyanjule. Nambooze yagambye nti wadde yali ateekwa okuddayo mu ddwaaliro okukeberebwa naye obulwadde bwasajjulwa abaserikale abaamukwata. “Bankuba n’okuntulugunya omugongo ne guttuka. Baasajjula obulwadde abaserikale abaali bamperekera mu kabangali ya poliisi bwe yatomera mmotoka yaffe etambuza abalwadde ne nva ku katanda ne ngwa wansi mu mmotoka ebyuma mu mugongo ne biseeseetuka,” Nambooze bwe yagambye. Abasawo baali bamugaanyi okuddayo nga bagamba nti basobola okumujjanjaba kyokka embeera bwe yayongera okwonooneka ne bamukkiriza atwalibwe. Palamenti ya Uganda mu nkola yaayo eya yinsuwa yamuwadde obukadde 100 atwalibwe e Buyindi. Kyokka poliisi yategeezezza nti basigadde banoonya bujulizi ku musango gwavunaanibwa okuwandiika ebigambo ebyobulabe n’okusasamaza ku mukutu gwa komputa For more #AGOMUMPAPULA Click here -https://www.youtube.com/playlist?list... 🔥Stay updated! 🔔 Subscribe Now 🔥 https://www.youtube.com/c/trendinguganda 🔥
Ebya Betty Nambooze biteredde agenze Buyindi okuddamu okumulongoosa omugongo || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 3 Likes | 3 Dislikes |
| 1,036 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 4 Jul 2018 |
trending ugandan gossip
trending uganda inside story
trending ugandan music this week
trending uganda youtube
trending uganda youtube channel
trending ugandan music 2019
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan gospel music
trending ugandan songs 2018
trending ugandan music
trending ugandan gospel songs
trending ugandan hairstyles
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan music 2018
trending ugandan movies
trending uganda music 2018
trending ugandan artists
trending ugandan celebrity news
trending ugandan entertainment news
trending ugandan videos
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét