
Stay updated! 🔔 Subscribe Now https://goo.gl/EgnKzy Polof. Jonathan Moyo yasinzidde mu kifo ekyekusife mu South Afrika gye yeekukumye n’alumiriza Mnangagwa ne Gen Chiwenga nti, balina doola obuwumbi 15 (eza Uganda obuwumbi 558,000) ez’omuwi w’omusolo ze bakukulide e China. Bino Polof. Moyo abadde Minisita w’Amatendekero agawaggulu ne Tekinologiya yabyogedde nga Pulezidenti Mnangagwa eyazze mu bigere bya Mugabe yaakamala okulangirira ekisonyiwo kya myezi esatu eri bonna ababba ssente za Gavumenti singa bazikomyewo tebagenda kuvunaanibwa kyokka singa balemwa omukono gw’amateeka gwakubalondoola. Ekiwandiiko kye yafulumizza, ekisonyiwo kino yakiwadde abantu ssekinnoomu n’amakampuni n’alabula nti singa batuuka ku nkomerero ya February 2018 nga tebannazza nsimbi ze babba agenda kubakwasa eryaanyi batwalibwe mu mbuga z’amateeka. Kyokka Polof. Moyo yagambye nti, Mnangagwa ne Chiwenga bandibadde ekyokulabirako ekirungi eri Zimbabwe ne bazza byonna nabo bye babbye mu myaka 37 gye babadde mu bukulembeze n’abalumiriza nti balina ensimbi enkalu n’ebyobugagga mu China byonna awamu nga biri mu doola obuwumbi 15. “ Mnangagwa ne munne Chiwenga be balina okusooka ku layini ey’abakomyawo ebibbe, ani atakimanyi mu Zimbabwe nti be babadde basima ebirombe byonna eby’amayinja aga Diamond nga bwe batunda mu China”, Moyo bwe yategeezezza. Polof. Moyo y’omu ku baminisita ba Mugabe abagagga ffuge, nga kigambibwa nti alina amayumba ag’ebbeeyi n’aga bizinensi munda n’ebweru wa Zimbabwe era okudduka mu Zimbabwe kigambibwa nti yadduka ne ssente enkalu eza doola ne Pawunda za Bungereza ezisukka mu bukadde 15 ( eza Uganda obuwumbi nga 550). Bino nga bikyali ku bbali Gen. Chiwenga ne Polof. Moyo bo ng'abantu tebalima kambugu era Gen. Chiwenga yatutte Polof. Moyo mu kkooti ng'amuvunaana okumulebula nti, diguli y'obwadokita gye yasomera e South nfu, n'agamba nti, yamuswaza era ayagala kkooti eragire Moyo aliyirire Chiwenga obukadde bwa doola butaano. Ebigambo Chiwenga bye yeesibako nti, byamulebula Polof. Moyo kigambibwa nti, yabyogera mu 2010.
Ebibadde mu Ggwanga || Minisita wa Mugabe alangidde abaawambye Mugabe obubbi - YouTube |
| 1 Likes | 1 Dislikes |
| 378 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 30 Nov 2017 |
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan music
trending ugandan gospel songs
trending ugandan songs 2018
trending uganda music 2018
trending ugandan gossip
trending uganda youtube
trending ugandan gospel music
trending uganda youtube channel
trending ugandan movies
trending ugandan music 2019
trending ugandan artists
trending ugandan celebrity news
trending uganda inside story
trending ugandan videos
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music this week
trending ugandan hairstyles
trending ugandan music 2018
trending ugandan entertainment news
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét