
PULEZIDENTI Museveni agambye nti abakolokota gavumenti ya NRM n’okukola ebikolwa ebyefujjo ebirala ng’okutemula abantu bagikyayise nga balowooza egenda kugwa Katonda abalaba. ‘’Bw’oba werimba nti ogenda kukozesa leediyo, emikutu gy’empuliziganya egya kompyuta (social media) n’eddiini oddire ekintu ekyeru okuyite ekiddugavu Katonda nnyini buyinza akulaba era ajja kubatuzaako akazito’’ Museveni bw’agambye. Kyokka ategeezezza nti newankubadde waliwo abagezaako okukyayisa NRM naye Bannayuganda abasinga ‘’ssi basiru’’ bamanyi ekituufu y’ensonga lwaki baayiridde NRM obululu n’ekubira waggulu mu kulonda aba LC1. Mu kiwandiiko ekipya pulezidenti kyafulumizza ku kulonda LC1 n’akissa ku mukutu gwe ogwa ‘Twitter’, ategeezezza nti NRM yawangudde ebifo bya LC1 ku byalo 37,496 nga bino bitundu 69% , abatalina ludda ne bafuna 11,685 n’ab’oludda oluvuganya ne bafuna 5,532 byokka. Kwe kulayira nga bw’agenda okulwanyisa enguzi n’asuubiza okussaawo ennamba mu ofiisi ye Bannayuganda gye bajja okukuba okuloopa abakungu ba gavumenti abasaba enguzi okukola ku bizibu by’abantu. Mu ngeri y’emu yagambye nti minisitule ya gavumenti z’ebitundu egenda kugabira aba LC1 sitampu n’obutabo bwa lisiiti emirimu gye bakola gisobole okubaamu obwerufu. Kino kye kimu ku bye yagambye nti bigenda kuyamba okulwanyisa obuli bw’enguzi mu bukiiko bwa LC1. N’agamba nti olukiiko lwa baminisita lugenda kutuula lufulumye olukalala lw’ebintu ebirina okukolebwa aba LC ne bye batalina kukola. Museveni yanenyezza abaasoma olw’okusuula obuvunaanyizibwa bw’obukulembeze obwabakasibwa oluvannyuma lwa 'bapiizanti, abajaasi n’aba LC1 okusima omusingi gw’okukulembera eggwanga lino. Yagambye nti ebimu ku bituukiddwaako gavumenti bwe butebenkevu.Yagambye nti NRM etaddewo empagi eziwerako omuli n’okukiriza baneekolera gyange okutandika wano emirimu egivaamu ensimbi.okubunyisa amasanyalaze,essimu,amazzi amayonjo n’ebirala ebiyambye okutumbula embeera za Bannayuganda. Kyokka yagambye nti olw’aba NRM abamu okwesulirayo ogwa naggamba waliwo obulimba obumansibwa ku mikutu gy’empuliziganya egimu ne bubuzabuza abavubuka. Yazzeemu okulaba bannyini mataka obutagobaganya babibanja n’agamba NRM yazzaawo enkola ya ‘ba landi loodi n’ebebibanja’ eyali egyiddwaawo Idi Amin ng’esuubira wajja kubaawo enkolagana ennungi. Yagambye nti kya nnaku ba bapizanti ebeenyigira mu kuleeta enkyukakyuka mu lutalo lw’e Luwero ne basinze okukafiramu. Yanenyezza ebibiina by’obwanakyewa ebimu olw’okulokota n’okubuzabuza
Bobi wine ne kanyama Eddy mutwe mu Kadukulu, Museveni atabukidde ba LC1 || BINSANGAWANO - YouTube |
| 19 Likes | 19 Dislikes |
| 5,106 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 17 Jul 2018 |
trending ugandan videos
trending ugandan music 2018
trending ugandan gossip
trending ugandan music
trending ugandan celebrity news
trending uganda music 2018
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music this week
trending uganda youtube channel
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan music 2019
trending ugandan hairstyles
trending ugandan entertainment news
trending ugandan movies
trending ugandan artists
trending uganda youtube
trending ugandan songs 2018
trending ugandan gospel songs
trending uganda inside story
trending ugandan gospel music
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét