
OMUGAGGA Sudhir Ruparelia ataddewo ebizimbe bye bibiri ng’omusingo eri Gavumenti nga bw’anoonya ssente z’emubanja. Kuno kuliko Common Wealth Resort Munyonyo okuli Speke Resort ne Baumann House. Bamulagidde ssente azisasule mu mwaka gumu bw’alemwa ebirala birugenda. Baamulagidde asooke asasule obukadde bwa ddoola 18 mu buliwo aweeyo n’ebyapa ng’omusingo bw’abeera nga mwetegefu okumalira ensonga zino ebweru wa kkooti. Bbanka ya Uganda Enkulu ku lwa Crane Bank, yatutte Sudhir mu kkooti nga baagala aliwe obuwumbi 400 ze yafiiriza bbanka ng’akola ebikontana n’amateeka agafuga bbanka n’ebitongole ebiwola ensimbi. Ensonda zaategeezezza nti Sudhir yawandiikidde bbanka ya Uganda Enkulu ng’akkiriza okuwaayo Munyonyo kyokka yabadde asaba bamuwe obudde ssente azisasula mu bbanga lya myaka 5 ne bagaana nga baagala azisasule mu mwaka gw’ebyensimbi guno kubanga bbanka ya Uganda erina ssente ze yakutte n’eziteeka mu Crane Bank weebeeredde mu katuubagiro. Ekifo ky’e Munyonyo kitudde ku yiika 76 nga mu 2013 baali bakibaliriramu obukadde bwa doola 160. Muno Sudhir y’asinzaamu emigabo kyokka ng’obwannannyini abulina wamu ne gavumenti ya Uganda. Mu October wa 2016 Bbanka enkulu yeddizza Crane Bank n’egizza mu DFCU Bank mu January w’omwaka guno. June 30, 2017 yatutte Sudhir mu kkooti ng’emuwawaabira wamu ne kkampuni ye eya Meera Investments wamu n’abalala be amulumiriza nti be yakola nabo eby’ekifere okufiiriza bbanka ssente nga bano n’Omusuubuzi Godfrey Kirumira kw’ali. Okusinziira ku mpaaba gye baataddeyo mu kkooti, Sudhir ye yali nnannyini bbanka ya Crane era nga ye nnannyini mugabo gyonna egirimu naye bwe yalaba ng’embeera etandise okutabuka n’asalawo okugitunda ng’agiguza kkampuni ate ezize. Ebirala ebimuvunaanibwa kwe kubeera nti ssente z’abakozi be ze yalina okuteeka mu kitongole ekitereka ssente z’abakozi ekya NSSF eziwera obuwumbi 50 teyaziteekayo. Omwagaanya gw’okuteesa ensonga bazimalire ebweru wa kkooti weeguli ssinga Sudhir akkirizaganya n’obukwakkulizo obumuteekeddwaako.
BITABUSE - Sudhir Ruparelia ataddewo ebizimbe bye bibiri ng’omusingo eri Gavumenti - YouTube |
| 24 Likes | 24 Dislikes |
| 4,526 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 14 Jul 2017 |
trending uganda youtube channel
trending ugandan music this week
trending ugandan mp3 songs
trending uganda inside story
trending ugandan music
trending ugandan gospel songs
trending uganda youtube
trending ugandan celebrity news
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan gossip
trending ugandan entertainment news
trending ugandan songs 2018
trending uganda music 2018
trending ugandan artists
trending ugandan music 2019
trending ugandan hairstyles
trending ugandan gospel music
trending ugandan movies
trending ugandan videos
trending ugandan music 2018
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét