
ABAKUNGU abakkiriziddwa okulaba Gen. Kale Kayihura mu kkomera boogedde bye yabattottoledde n’abalaga n’ebisinga okumuluma mu kiseera kino. Mu bye baayogedde n’ensonga ya AIGP Andrew Felix Kaweesi baagituuseeko era Kayihura n’abeeyabiza n’ababuulira ekimuli ku mutima. Kaweesi eyali omwogezi wa poliisi yakubwa amasasi nga March 17, 2017 e Kulambiro nga yaakava mu makaage ne bamutta ne ddereeva we wamu n’omukuumi we. Abantu bana baasisinkanye Kayihura wiiki ewedde nga kuliko ne Minisita omukyala (amannya galekeddwa) era Bukedde yayogeddeko n’abamu ku bantu abo ne balambulula ebyo bye baayogeddeko n’eyali omuduumizi wa poliisi mu ggwanga okumala emyaka 13. BYE YAYOGEDDE KU KAWEESI Okuva lwe yakwatibwa nga June 13, 2018 nga bamuggya ku ffaamu ye e Kasagama Lyantonde, Kayihura abadde teyeeyabiza bantu, wabula wiiki ewedde nti yatandise okubuulira abamu ku bantu abaamukyalidde ebimuluma. Baamusisinkanye mu kkomera e Makindye wabula omu ku bantu bano yategeezezza nti yasoose kuwubisibwa nti Kayihura bamuzzizza mu makaage e Muyenga wabula bwe yatuuseeyo ate ne bamutegeeza nti taliiyo; olwo kwe kudda e Makindye n’alemera ku baserikale ba “Militale Poliisi” abavunaanyizibwa ku kifo kino. Oluvannyuma lw’okwebuuza, abaserikale baamukkirizza okuyingira era ne bamuwa essaawa emu yokka okulaba Kayihura era ne bamulaalika nti obudde bwe buggwaako ng’asiibule. Abalala okuli ne Minisita tebaabasumbuye nnyo. Ku bonna abakkiriziddwa okumulaba, kyategeezeddwa nti Kayihura yennyini yabadde amaze okulaga abaserikale nti yeetaaga okubalaba. Kayihura nti, yasoose kubalaga bulumi bw’alina okuwulira nti waliwo n’abantu abalowooza nti alina ky’amanyi ku kutemulwa kwa Kaweesi. Yabalambululidde engeri gye yali akwatagana obulungi ne Kaweesi era n’abategeeza nti yasanga Kaweesi n’amulabamu obusobozi era n’asalawo n’amutendeka n’amukuza mu madaala olw’obusobozi bwe yamulabamu. Yabagambye nti, kino kyanyiiza abamu ku baserikale abaamadaala aga waggulu nga bamulaba ng’abiibiita Kaweesi nti kyokka bino tebyamuggya ku mulamwa yakitwala ng’atabiwulidde n’agenda mu maaso. Yabagattiddeko nti Kaweesi yali mukono gwe Ogwa ddyo. Bwe yabeerangawo, yasobola nga n’okuggyako essimu ye ne yeebaka mu mirembe ng’akimanyi bulungi nti kyonna ekinaaba kiguddewo, Kaweesi asobola okukimaliriza. Yagasseeko nti, yakimanya nti olunaku lumu bujja kukya nga takyali muduumizi wa poliisi era Kaweesi y’omu ku bantu be yali atunuulira abasobola okudda mu bigere bye. Yamwogeddeko ng’omuntu eyali omugezi wadde nga naye yalina ensobi ze ng’omuntu nti kyokka baazimulooperanga enfunda eziwera naye bwe yamubuuzanga n’alaba nga tewali buzibu bunene, ne basigala nga batambuza emirimu. Nti awo we yabategeerezza nti aba kuba nga yalina akantu konna ku Kaweesi yandibadde amaanyi agassa ku misango gye baamulooperanga ku Kaweesi n’alagira ne bamuggalira n’avunaanibwa. Mu bimu ku byogerwako y’enkwata y’omusango gw’okuttibwa kw’omusuubuzi w’omu Kampala Wamala Ssendeeba gwe battira e Mutungo kyokka omu ku bannamwandu n’alumiriza Kaweesi nti yalemesa omusango guno okukwatibwa obulungi. Omu ku baamusisinkanye yategeezezza Bukedde nti: Buli lwe yabadde ayogera erinnya lya Kaweesi, ng’alaga obulumi. Yatuuse n’okubategeeza nti olunaku olwo lwe batta Kaweesi kumpi yawunga era yatuuka n’okutomera ekisenge nga takirabye. Nti mu ngeri eraga ennyiike yatuuse n’okugamba omu ku baamusisinkanye nti bw’anaaba asisinkanye Pulezidenti amugambe nti bw’aba nga naye alowooza nti Kayihura alina akakwate konna ku bya Kaweesi, mwetegefu okuwanikibwa ku kalabba akadde konna. For more #BINSANGAWANO click here https://www.youtube.com/playlist?list...
Bibino ebigambo Kayihura byayogedde ku by'okutta Kaweesi || BINSANGAWANO - YouTube |
| 25 Likes | 25 Dislikes |
| 6,360 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 19 Jul 2018 |
trending ugandan hairstyles
trending ugandan celebrity news
trending ugandan gospel songs
trending ugandan gossip
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan videos
trending ugandan entertainment news
trending ugandan songs 2018
trending uganda music 2018
trending uganda youtube
trending uganda youtube channel
trending ugandan music 2018
trending uganda inside story
trending ugandan music 2019
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan artists
trending ugandan movies
trending ugandan music this week
trending ugandan gospel music
trending ugandan music
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét