
ABAKULEMBEZE b’omuzikiti gwa USAFI abaakwatiddwa batutte poliisi n’ebitongole by’ebyokwerinda ebirala mu nnyumba zaabwe ne bakkiriza nti babadde beenyigira mu bikolobero omuli n’ebyokutta omuwala Suzan Magara eyatemulwa nga February 27, omulambo gwe ne gusuulibwa e Kitiko ku Entebe Expressway. Abdul Rahman ne banne mukaaga bwe babadde bakulembera omuzikiti gw’omu Kisenyi, mu kwerinda okw’amaanyi baakulembeddemu poliisi okubatuusa kw’emu nnyumba yaabwe e Buziga – Konge poliisi n’eyaza n’ebuziizi okukkakkanga ng’egudde mu biwandiiko omuli ebyama, kompyuta n’ebissi. Nga tebannatwalibwa Buziga – Konge eggulo ku Lwokubiri, Abdul-Rahman ne banne basoose kuzzibwayo ku muzikiti mu Kisenyi ku Mmande poliisi n’ebakwata ku butambi oluvannyuma n’ebatwala abalage ebintu ebirala mu muzikiti. Okusinziira ku nsonda mu poliisi, omuvunaanibwa omukulu Abdul Rahuman Faisal ye yasoose okukkiriza n’alagira ne basajja be okukolagana obulungi n’ababyekwerinda nabo ne boogera amazima nti kituufu be baamutta. Kyokka kigambibwa nti, bano balina omuntu eyabapangisa okukola omulimu guno poliisi gw’ekyayigga. Eggulo, baatutte ab’ebyokwerinda mu nnyumba gye bagamba nti gye baasira Magara eyali omubazi w’ebitabo mu kkampuni ya kitaawe, John Fitzgerald Magara eya Bwendero Dairy Farm oluvannyuma ne bamutta nga wayise ennaku 20 okuva lwe baamuwamba. Okusinziira ku nsonda mu poliisi, e Kkonge ekisangibwa mu Municipaali y’e Makindye abakulembeze b’omuzikiti gye baatutte abaserikale, baasanzeeyo kompyuta nga kiteeberezebwa nti, zino kwe babadde basinziira okwogerezeganya ne bannaabwe e Iraq, Syria ne Iran ababadde babavujjirira omusimbi. Ebirala bye baggyeeyo mwabaddemu ebitabo, kaadi za bbanka, amasimu ne layini ezibadde teziri mu ssimu n’ebintu ebirala. Bino byonna, ab’ebyokwerinda baabitutte ng’ebizibiti okulaba engeri gye basobola okubyeyambisa mu kuzimba omusango. SSENTE ZE BAAFUNA MU KUWAMBA MAGARA BAAZIGABANIRA KU MUZIKITI Okusinziira ku nsonda mu poliisi, Abdul Rahuman yabategeezezza nti, aba famire ya Magara bwe baamala okubawa ssente obukadde 700, baafunako omutemwa gwabwe eyali abapangisizza gwe yabawa. Bwe baafuna ssente zino, baagenda butereevu ku muzikiti era gye baazigabanira buli omu n’afuna ezize nga kiteeberezebwa nti, n’emmotoka ze babadde bavuga n’obulamu obweyagaza bwe babadde balimu, babadde beeyambisa Bazinze amaka ga be baakutte mu Kisenyi ne baboogeza ezimu ku ssente zino. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Emilian Kayima yagambye nti, okunoonyereza kwe baliko kutambula bulungi era balina we batuuse ku misango omuli egy’okuwamba abantu n’agamba nti n’abazadde abalina abaana baabwe abaatwaliddwa, babeere bagumu balabirirwa bulungi era mu bwangu ddala bajja kubabaddiza. Kayima yagambye nti, mu bbanga eritali lyawala, bagenda kutegeeza eggwanga we banaabeera batuuse nti kyokka tasobola kusumulula luwombo ng’ekiseera ekituufu tekinnatuuka. For more click here - https://www.youtube.com/playlist?list...
Bazinze amaka ga be baakutte mu Kisenyi ne baboogeza eby'okutta Susan Magara || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 14 Likes | 14 Dislikes |
| 2,791 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 3 May 2018 |
trending uganda inside story
trending ugandan gossip
trending uganda music 2018
trending uganda youtube
trending uganda youtube channel
trending ugandan celebrity news
trending ugandan music this week
trending ugandan artists
trending ugandan music 2018
trending ugandan gospel music
trending ugandan songs 2018
trending ugandan music 2019
trending ugandan gospel songs
trending ugandan hairstyles
trending ugandan entertainment news
trending ugandan movies
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan music
trending ugandan videos
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét