
FAMIRE e Luweero erumirizza Ssaabalamuzi Bart Katureebe okwekomya yiika z’ettaka 840. Naye abaanukudde nti ako kabinja ka bafere abagenderera okwonoona erinnya lye n’okumuggyamu ssente ku ttaka lye. Yabagambye nti ettaka lye bayita eryabwe n’ekyapa kye batambula nakyo kyasazibwamu dda kyokka bagenda babuzaabuza abantu nti ekyapa kituufu. Agamba nti balowooza tasobola kuvaayo kwerwanako olwa ofiisi gy’alimu. ENTANDIKWA Ebiwandiiko biraga nti omugenzi Samuel Kizza Gwonyoma yafuna liizi ya myaka etaano mu 1976 ku ttaka lino eriri ku Bulooka nnamba 980, ku poloti 19, ku kyalo Kabulamugwa ekisangibwa e Ngoma mu Disitulikiti y’e Nakaseke. Abaana b’omugenzi Gwonyoma abaakulembeddwa omusika John Bosco Walusimbi ne bannamwandu babiri okuli Ruth Kigongo ne Joyce Namuddu, baategeezezza nti bwe baafuna obuyinza obulabirira ebintu by’omugenzi tebaasooka kukitegeera nti ettaka lyabwe liriko ekyapa ekirala. Okukitegeera nga bamaze okuliguza Godfrey Banunu. Walusimbi yategeezezza nti emyaka gya liizi etaano gyaggwaako mu 1981 era kitaabwe teyasobola kuzza buggya ttaka olw’olutalo. Ebiwandiiko biraga nti nga June 1, 1992, Gwonyoma yasaba bazze obuggya liizi ye ng’awa ensonga ssatu Ettaka yalizimbako ebidiba by’ente mukaaga era yalissaako olukomera lwa ssehhenge, Alundirako ente 275, Alinako olusuku n’ennyumba. Ebiwandiiko biraga nti mu 1995 yapangisa George Mugyenyi ku ttaka lye alundireko ente ebbanga lya myaka 10 okutangira ettaka lye obutabbibwa. Endagaano ya Mugyenyi yaggwaako mu 2005. Kigambibwa nti Mugyenyi ye yatwala abalala ku ttaka eryo nabo babapangise. Walusimbi yalaze endagaano eyakolebwa nga September 14, 2007 ng’eraga nti kitaabwe Gwonyoma yapangisa Omulamuzi Bart Katureebe (kati Ssaabalamuzi) ekibanja alundireko ente 100. Endagaano eraga nti yali ya myaka esatu nga buli mwaka ateekwa kusasula obukadde busatu, kyokka ye alaga nti ekiseera ekyo yali yagula dda ettaka eryo. Mu mwaka 2010, Gwonyoma yagwa ku kabenje ng’akyama ewuwe ne mukyala we Damalie Babirye ate ne mukwano gwe Mugyenyi naye n’afa mu kiseera ekyo. Walusimbi yategeezezza nti baafuna ebiwandiiko ebikwata ku ttaka lyabwe nga biraga nti liizi ye yazzibwa obuggya kyokka ng’ekyapa tebannakitereeza. “Twafuna obuyinza ne batuwa ekyapa nga tewali muntu yenna yeemulugunya nti yagula ku tatka lino. ” Yagambye nti ekiseera ekyo waliwo abantu abaali basenze ku ttaka eryo nga nabo balyekomezza. “Olw’okwewala entalo, twasalawo ekitundu awali abantu abalala tukisaleko era twakutula mu kyapa abalala ne tubaleka ebbali ne tusigaza ettaka lyaffe nga tewali alirinako kiwandiiko kirala,” Walusimbi bwe yagambye. Yagambye nti baalemwa okukozesa ettaka eryo ne basalawo okulitunda. Baaliguza omusuubuzi Godfrey Banunu ku bukadde 760 era nti yakebera bulungi ettaka n’ekyapa kyabwe nga tekiriiko nkaayana yonna era nga ky’ekiri kyokka mu kompyuta. Yagambye nti nga bamaze okuguza Banunu ettaka, kwe kubayita ku poliisi nti basaalimbira ku ttaka lya Ssaabalamuzi. Banunu gwe baaguza ettaka yagambye nti azze yeekubira enduulu mu ofiisi ez’enjawulo nga tayambibwa era ensonga yazitutte mu kakiiko k’omulamuzi Bamugemereire nga August 7, 2017 bamuyambe. SSAABALAMUZI ANNYONNYODDE Ebiwandiiko bya Ssaabalamuzi biraga nti ettaka yaligula nga December 1, 2005 okuva ku mugenzi George Mugyenyi ku ssente obukadde 280 era ekyapa aba famire ya Gwonyoma kye batambuza kkooti yalagira ne kisazibwamu. Omulamuzi okuligula yasooka kwetegereza bulungi nti Mugyenyi ye nnannyini ttaka lino. Endagaano eraga nti olukiiko olufuga ettaka ku disitulikiti y’e Luweero oluyitibwa Luweero District Land Boad lwatuula nga August 11, 2003 ne lusalawo awatali kwetemamu ne luwa Mugyenyi ettaka eryo era ebiwandiiko byonna weebiri. Ekiteeso kwe baaweera Mugyenyi ettaka kiri ku ‘minute 45’ (ekiteeso 45).
Balumirizza Ssaabalamuzi Katureebe okwekomya ettaka yiika 840 || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 2 Likes | 2 Dislikes |
| 420 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 14 Aug 2017 |
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan entertainment news
trending ugandan gospel songs
trending ugandan videos
trending uganda music 2018
trending ugandan gospel music
trending ugandan artists
trending ugandan songs 2018
trending ugandan music 2018
trending ugandan music
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan gossip
trending ugandan music this week
trending ugandan music 2019
trending ugandan celebrity news
trending uganda youtube channel
trending uganda inside story
trending ugandan movies
trending ugandan hairstyles
trending uganda youtube
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét