
Stay updated! 🔔 Subscribe Now https://goo.gl/EgnKzy AMAWANGA ag’enjawulo naddala aga Bulaaya gaasanyukidde okulekulira kwa Mugabe era ne galaga obweyamu okukolagana ne gavumenti empya okuzza Zimbabwe ku luguudo. Amawanga okuli Bufaransa, Girimaani, n’amawanga amalala geegasse ku Amerika okuyozaayoza engeri enkyukakyuka mu Zimbabwe gye zaakwatiddwaamu mu mirembe ne ziggwa nga tewali afunye kisago. Katikkiro wa Bungereza Theresa May yagambye nti okulekulira kwa Mugabe kuwa Zimbabwe omukisa okutema empenda ezibatwala mu maaso nga tewali kunyigiriza bantu. Yagambye nti Bungereza nga mukwano gwa Zimbabwe owedda, bagenda kukola kyonna ekisoboka okubawagira okubeera n’okulonda okw’amazima n’obwenkanya n’okuddamu okuzimba ebyenfuna by’eggwanga. Zimbabwe lyali ttwaale lya Bungereza nga liyitibwa Rhodesia era baatabuka nga Mugabe agobye Abazungu mu masamba n’agagabira abaddugavu abaazirwanako. Mugabe yagenze okulekulira nga Emmerson Mnangagwa eyalondeddwa ab’ekibiina ekiri mu buyinza mu Zimbabwe okudda mu bigere bya Mugabe yaakaweereza ekiwandiiko ekigaana okusisinkana Mugabe eyabadde amuyise boogere. Kigambibwa nti Mnangagwa yabadde yeekengedde nti mu kugenda okusisinkana Mugabe ayinza okugwa mu butego obuyinza okusaanyaawo n’obulamu bwe kubanga ababiri bano kati kabwa na ngo. Mnangagwa baamuwa obutwa obw’ekika kya Thalium mu August 2017 wabula Gen. Chiwenga n’amuyambako okufuna obujjanjabi n’asimattuka. Kyokka omukutu gwa Daily News ogwa Zimbabwe gwategeezezza nti Mugabe mu kuyita Mnangagwa yabadde agezaako kuzza nkolagana ng’amaze okugonda era ng’ayagala Pulezidenti anaamuddira mu bigere akkaanye n’ebyo amagye bye gaabadde geeyamye okukola. Amagye nti gaasoose kuwaliriza Mugabe akkirize okulangirira nga bw’azzizza Mnangagwa ku bumyuka bwa Pulezidenti nga kino kitegeeza nti okulekulira kwa Mugabe kuba kutegeeza nti Mnangagwa y’afuuse Pulezidenti ow’ekiseera. Ebyo byonna Mugabe nti yabadde ayagala abyogereko ne Mnangagwa wabula omusajja ono eyakazibwako “Ngwenya” (ekitegeeza Ggoonya) n’abigaana. Ebizze bibaawo November 6: Omumyuka wa Pulezidenti Emmerson Mnangagwa avumirirwa mu lujjudde era Mugabe amugoba ng’amulanga okwagala okutwala obuyinza ng’ayita mu ddogo. November 13: Omuduumizi w’amagye Gen. Constantino Chiwenga akola sitatimenti etali ya bulijjo nti amagye gajja kuyingirawo ssinga bannabyabufuzi tebeetereeza November 14: Ttanka z’amagye ziva mu nkambi ne zisalako ekibuga ekikulu Harare, gawamba leediyo ne ttivvi. November 15: Amagye galangirira nti Pulezidenti Mugabe bamusibidde mu makaage era tajja kugafuluma. November 16: Emikutu gy’amawulire egya Gavumenti giraga ebifaananyi nga Mugabe ataddeko akamwenyumwenyu n’omuduumizi w’amagye wakati mu nteeseganya ezaali zigenda mu maaso. November 17: Amagye gakkiriza Mugabe okwetaba ku mukolo gw’amatikkira ogw’ekimpoowoze era tegaamukkiriza kuwerekerwako muntu. November 18: Abantu abasukka mu kakadde beeyiwa mu nguudo z’ekibuga ekikulu Harare okwekalakaasa nga baagala Mugabe abaviire November 19: Ekibiina kya ZANU –PF ekya Mugabe kimugoba ku bukulembeze bwakyo era ne kimulagira okulekulira. Amatiza amagye nti agenda kulekulira ne bamukkiriza okulabikira ku ttivvi y’eggwanga kyokka n’asoma ebintu ebirala. November 20: Akakiiko akafuzi aka ZANU PF katandika entegeka ez’okumuggyamu obwesiga nga bayita mu Palamenti. November 21: Entegeka z’okumuggyamu obwesige ziba zitandika mu Paalimenti n’alekulira
Amawanga gasanyukidde okulekulira kwa Mugabe || Ebibadde mu Ggwanga - YouTube |
| 14 Likes | 14 Dislikes |
| 1,436 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 22 Nov 2017 |
trending uganda youtube channel
trending uganda inside story
trending ugandan entertainment news
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan gospel songs
trending ugandan music 2018
trending uganda youtube
trending ugandan celebrity news
trending ugandan artists
trending ugandan music
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan movies
trending uganda music 2018
trending ugandan songs 2018
trending ugandan videos
trending ugandan gossip
trending ugandan music this week
trending ugandan hairstyles
trending ugandan gospel music
trending ugandan music 2019
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét