
AMAGYE gategese okuleeta abajulizi abawerako omuli ne ASP Mohamad Kirumira okulumiriza Abdallah Kittatta n’abantu be ku misango gy’azze akola mu Kampala. nsonda mu magye zaategeezezza nti abantu bangi abalina obujulizi obuli mu kuteekebwteekebwa era omu ku bajulizi be batunuulidde ye ASP Kirumira eyalwa ennyo mu Kampala n’alaba emivuyo Kitatta gye yajjanga yeenyigiramu ne basajja be. Ye Kirumira avuddeyo n’awa bwino ku Abdallah Kitatta, engeri gy’amaze ebbanga ne banne okuva mu 2010 nga bazza emisango n’okutulugunya aba bodaboda bannaabwe wabula nga tavunaanibwa. “Kitatta ne banne okuli Joel Kibirige ne Atanansi Kafeero bazze bakuba abantu okuviira ddala mu 2010 kyokka tewali kyali kibakoleddwa,” Kirumira bwe yategeezezza. Yannyonnyodde nti mu kiseera ekyo yali ku poliisi ya Kampalamukadde ng’akyali [PC] nga yali akolera mu ofi isi ekola ku misango egy’okukubwa n’emirala emitonotono. Agamba nti lumu ajjukira Kitatta ne banne okukuba abasajja okwali Kanyike Kiviiri n’abalala nga babalanga okugaana okwegatta ku kibiina kya Bodaboda 2010. Yayongeddeko nti omusango guno omuwaabi wa gavumenti fayiro yagiyisa n’alagira batwalibwe mu kkooti wabula awo we byakoma era fayiro zirabika zaakwekebwa. Wabula mu bitabo bya poliisi eby’enjawulo okuli SD, CRM oba MCB omuyingizibwa emisango ku poliisi ya Kampalamukadde, emisango gino mwegiri. EMISANGO GYE BANZIGUDDEKO GIRINA EKIGENDERERWA Kirumira mu kiseera kino awoza emisango mu kkooti ya poliisi egyamuggulwako bakama be kyokka agamba nti okumuvunaana mu kiseera kino kigendereddwaamu kumuswaza na kuggya bantu ku bya Kitatta ebigenda mu maaso. Kirumira agamba nti mu April 2016 yawandiikira Kitatta ne banne ng’abalabula okukomya okukuba abaserikale ababeera bagenze okubakwata nga bakoze effujjo kubanga eno yalinga nkola y’abakulembeze b’ekibiina kya Bodaboda 2010. Agamba nti kino nga kiwedde waayitawo ennaku ntono ne baddamu okukwata pikipiki za bannaabwe mu ngeri emenya amateeka era bwe yagendayo n’akwatayo pikipiki 10, n’aziddiza bannannyini zo, endala ze yali akutte bakama be (aba Kirumira) baamulagira aziddize aba Bodaboda 2010 era ne bakimusibako nti awagira oludda oluvuganya gavumenti. Nti n’abamu bwe baakwatibwanga nga bakama be bamulagira abayimbule. Kirumira yategeezezza nti Atanansi Kafeero mu kiseera kino ali mu kwekweka alina emisango kumpi egisukka mu 100, kubanga Kitatta ye abadde abeera mabega ng’alagira bano era nga bwe bafuna obuzibu nga ye (Kitatta), y’akubira abapoliisi amasimu okubatiisatiisa babate era ne babayimbula olw’okuba batya okufi irwa emirimu gyabwe. NEEWUUNYA EMISANGO GYE BANVUNAANA - KIRUMIRA Kirumira yagambye nti yeewuunya egimu ku misango egyamugguddwaako omuli n’okutulugunya omu ku babbi kyokka ng’omubbi ono poliisi ya Flying Squad ye yamuttira mu bubbi. Yalumirizza nti okumuggulako emisango mu kiseera kino bakama be balowooza nti y’awa amagye ebyama ebikwata ku Kitatta. Yayongeddeko nti mu October wa 2016 bakama be baddamu ne bamuvunaana emisango emikadde kkooti gye yagoba edda wabula nga bakikola mu nkukutu naye ebya Kitatta bwe byavuddeyo ne bawalirizibwa bagiteeke mu mawulire basobole okuwugula abantu okuva ku biriwo. Yagasseeko nti waliwo omusajja ayitibwa Pius Kato gwe bamuvunaana nti naye yamutulugunya nti kyokka omusajja ono Flying Squad yamukuba amasasi e Bweyogerere ng’abba ku ssundiro ly’amafuta kyokka naye bamumuteekako nti ye yamutulugunya. Yagambye nti era bakama be baabadde bamuteze akakodyo akalala okumuleka ku mulimu ng’ate ali mu kkooti awoza ekitakkirizibwa mu mateeka nti kyokka akakodyo yakatebuse n’asooka adda ku bbali okutuusa ng’amalirizza emisango gino. Yakiraze nti olunaamala okuyita ku misango gino ng’assaamu okusaba kwe ng’alekulira era bwe banaamugaana ng’akuba ekitongole kya poliisi mu mbuga z’amateeka. Mu kiseera kino Kirumira ye DPC w’e Buyende. For more Ebibadde mu #Ggwanga episodes click here https://www.youtube.com/playlist?list... #Kaweesi #AndrewFelixKaweesi #Uganda #UgandaPolice #Police #TrendingUganda #Trending #ChristineMbabazi #Bobiwine !! #SaveUgMusic #SaveUgandaMusic #TaataSam #MaamaSam #Katusekemu #MathiasWalukagga #Walukagga #SaveUgMusic #SaveUgandaMusic, #SaveUgandanMusic #TrendinginUganda #EddySendi #EdwardSendi #MosesRadio #MozeRadio #Kasuku #TalkandTalk #RadioandWeasle #DjMichael #EddyKenzo #Kasuku #Wolokoso #Gossip, #UgandanGossip, #Olugambo, #EbibaddemuGgwanga, #Kogikuteko
AMAGYE gategese Afande Kirumira alumirizze Kitatta okutulugunya aba boda boda || Ebibadde mu Ggwanga - YouTube |
| 30 Likes | 30 Dislikes |
| 10,639 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 31 Jan 2018 |
trending ugandan songs 2018
trending ugandan entertainment news
trending uganda youtube
trending ugandan music 2018
trending uganda music 2018
trending ugandan music
trending ugandan celebrity news
trending ugandan artists
trending ugandan hairstyles
trending ugandan gospel music
trending ugandan music 2019
trending ugandan videos
trending ugandan music this week
trending ugandan gospel songs
trending ugandan movies
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan gossip
trending uganda youtube channel
trending uganda inside story
trending ugandan celebrity gossip
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét