
Amagye gongedde okukwata abaserikale babiri aba Flying Squad nga kigambibwa nti balina kye bamanyi ku kutemula Andrew Felix Kaweesi. Omuserikale Hassan Mutyaba yakwatiddwa ku Lwokusatu. Kigambibwa nti aggaliddwa mu kifo kya ISO e Bukedde Lwakutaano June 29, 2018 Amawulire 4 Bakutte abalala 2 ku bya Kaweesi Kyengera. Amagye era gaakutte ne Chris Ahimbisibwe omu ku basajja Muhangi be yali asinga okwesiga naddala mu by’okunoonyereza ku misango gy’okuwamba n’obutemu ng’akolera mu ofiisi ekola emirimu egy’ekikugu (technical). Bano bawezezza omuwendo gw’abaserikale ba Flying Squad mukaaga abaakakwatibwa. Abalala ye, mukama waabwe Herbert Muhangi, Abel Kitagenda, Martin Kimbowa ne Moses Kasibante. Mutyaba yakwatiddwa mbega wa ISO eyategerekeseeko erya Kakerenge. Kyabadde tekinnategeerekeka ngeri gye yeenyigira mu kutemula Kaweesi kubanga tabadde ku lukalala lw’abanoonyezebwa. Kyategeezeddwa nti Ahimbisibwe abadde yava mu Kampala n’adda mu kyalo e Bushenyi gye baamuggye. Ensonda zaategeezezza nti eyali omuyambi omukulu owa Kayihura agambibwa nti amanyi bingi ku kutemula Kaweesi, Assistant Commissioner of Police (ACP) Jonathan Baroza akyababuze. Kigambibwa nti bambega abaagenda mu Algeria okumunona baasanga obuzibu, abeebyokwerinda bwe baakola ekisoboka okubalemesa okumukomyawo. Bambega baakomawo, kyokka ne kitegeezebwa nti Baroza yabadde avudde mu Algeri n’agenda e Turkey. Wabula bambega baagambye nti baakozesezza enkolagana ya Uganda ne Turkey okumufuna nga kurabika ne mu Turkey taliiyo. Baroza bamulumiriza okuba ne ky’amanyi ku by’okutemula Kaweesi. Kyokka gye bvuvuddeko yasinziira mu Algeria gy’akolera n’ategeeza nga bw’atalina ky’amanyi ku butemu obwo. Baroza yali nnyo ku lusegere lwa Kayihura era bakimuteekako ngti yatuma abasajja babiri mu kifo awattirwa Kaweesi e Kulambiro we baabakwatira nga bayoola omusaayi. Baroza ye yali omuyambi wa Kayihura omukulu era nga kiteeberezebwa nti alina bingi by’amanyi ebiyinza okubayamba mu kubuuliriza kwe baliko. Mu kiseera Kayihura bwe yali e Turkey ne wabalukawo okulwanagana wakati w’amagye, Poliisi n’abaserikale b’Omusinga we Rwenzururu, Wesley Mumbeere, Kayihura yasinziira e bweru n’alonda Baroza okubeera omukwanaganya w’ebikwekweto e Kasese. For more #AGOMUMPAPULA Click here -https://www.youtube.com/playlist?list... 🔥Stay updated! 🔔 Subscribe Now 🔥 https://www.youtube.com/c/trendinguganda 🔥
Amagye gakutte abasirikale abalala ku by'okutta Kaweesi || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 10 Likes | 10 Dislikes |
| 2,717 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 29 Jun 2018 |
trending ugandan gospel music
trending ugandan hairstyles
trending ugandan celebrity news
trending ugandan gossip
trending uganda inside story
trending ugandan music 2019
trending ugandan songs 2018
trending ugandan music 2018
trending ugandan gospel songs
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan entertainment news
trending ugandan artists
trending ugandan videos
trending uganda music 2018
trending ugandan movies
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan music
trending uganda youtube channel
trending ugandan music this week
trending uganda youtube
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét