
ABAZIGU bawambye omusawo we Mpigi ng'agenda Kampala n'abasaba abenganda obukadde buna, nti singa zibalema omulambo bagunone mu Lwera. Jane Arinitwe 35 omusawo wakalwaliro ka St Cleo’s Drug shop e Kayabwe mu gombolola ye Nkozi mu Mpigi yeyawambiddwa ku Sande akawungeezi nga agenda e Kampala okusisinkana bagandabe bagende ku mikolo mu kyalo eMasindi. Arinitwe yasemba okulabibwako ng'alinya bodaboda eyamutwala ku stage ya Taxi mu kafene e Kayabwe kyokka ekyaddiridde bebatemu okukubira beyalese ewaka nti baweereze mangu ssente obukadde buna (4,000,000/-) bwe balemererwa banone omulambo gwabwe mu Lwera ku lwe Masaka. Simu eno basooka kugifuna ku ssaawa nya ezekiro era ku makaya (ku Mande) bakedde kunoonya ssente mu boluganda ne baweereza abatemu obukadde bubiri (2,000,000/) kyokka ne babawa nsalesale wa lwakutaano lwa wiiki eno singa balemererwa okuweza obukadde obuna banone omulambo gwa munnaabwe mu Lwera ekintu ekibatadde mu kutya okw'amaanyi. Bano nga bakulembeddwamu Juliet Businge baddukidde ku poliisi ye Kayabwe ensangi ne bazibakwasa era mu kiseera kino poliisi eri mu kuyigga batemu bano. Ab'enganda za Arinitwe abasangiddwa mu maziga bategeezeza nti ssente ezibulayo zikyababuze kyokka nga abatemu ababakubira ssimu bamalirivu nyo okutta Arinitwe kubanga tebaagala nakuteesa era bwogezaako okwogera nabo ebigambi ebingiko nga simu bagigyako. Omwogezi wa poliisi mu Katonga Joseph Musana ategeezezza nti batandise okulinya abatemu bano akagere era ssaawa yonna bakukwatibwa kyokka n'alabula abantu okuyamba ku poliisi singa baba bafunye amawulire agakwata ku bazigu bano. For more #AGOMUMPAPULA Click here -https://www.youtube.com/playlist?list... 🔥Stay updated! 🔔 Subscribe Now 🔥 https://www.youtube.com/c/trendinguganda 🔥 Cyril #AGOMUMPAPULA #Ramaphosa, #AmamaMbabazi, #Museveni, #CyrilRamaphosa ABAZIGU bawambye omusawo we Mpigi ng'agenda Kampala n'abasaba abenganda obuka
ABAZIGU bawambye omusawo ne basaba obukadde 4 || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 1 Likes | 1 Dislikes |
| 412 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 9 Aug 2018 |
trending ugandan entertainment news
trending ugandan gospel songs
trending ugandan gossip
trending ugandan music this week
trending uganda youtube channel
trending uganda inside story
trending ugandan movies
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan videos
trending ugandan artists
trending ugandan music 2018
trending uganda youtube
trending ugandan music 2019
trending uganda music 2018
trending ugandan hairstyles
trending ugandan songs 2018
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music
trending ugandan celebrity news
trending ugandan gospel music
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét