
Abawagizi ba Bobi battunka ne poliisi ku by’okumwaniriza OKUSIKA omuguwa wakati w’abawagizi ba Bobi Wine n’abeebyokwerinda lutandikiddewo, ng’entabwe eva ku nteekateeka z’okumwaniriza ng’akomawo enkya ku Lwokuna. Okuva Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ng’era ye mubaka Wa Kyaddondo East lwe yafulumizza pulaani y’okudda ng’ava mu Amerika gye yatwalibwa okujjanjabwa, obutakwatagana ku ntegeka z’okumwaniriza bwatandikiddewo. Kigambibwa nti wabaddewo kaweefube w’okulaba ng’abawagizi ba Bobi bakwatagana ne poliisi ku ntegeka z’okumwaniriza, beewale akavuyo wabula kaweefube tannavaamu bibala. Poliisi kati eraalise nti tebagenda kukkiriza kuyisa bivvulu ku luguudo lw’e Ntebe era ne bawabula n’aba ‘People Power’ (ekisinde kya Bobi) nti balina okuwandiikira poliisi nga bagitegeeza mu butongole ku nteekateeka zaabwe, ebalambike ku nteekateeka yaabwe. Bobi Wine yagenda mu Amerika nga August 31, omwaka guno. Mu bbanga eryo, atalaaze n’emikutu gy’amawulire egy’enjawulo n’atuuza n’enkiiko eziwerako mw’asinzidde okulumiriza abaserikale ba SFC okumutulugunya oluvannyuma lw’okumukwatira mu by’akalulu ka Arua omwezi oguwedde. OKUSIKA OMUGUWA NE POLIISI KWEYONGEDDE Olutalo waasooseewo lwa bigambo ng’abeebyokwerinda balabula aba People Power obutategeka kwaniriza Bobi nga tebagoberedde tteeka erifuga enkuhhaana; kyokka aba People Power nabo baategeezezza nti ekyo bakigaanye, ne bagattako nti eryo ddembe lyabwe okusanyuka n’okwaniriza omuzira waabwe (Bobi Wine) nga tebategeezezza ku poliisi kubanga tebalina ddembe lya muntu yenna lye bagenda kulinnyirira. Fred Nyanzi amanyiddwa nga ‘Chairman Nyanzi’ mukulu wa Bobi Wine eggulo yategeezezza Bukedde nti: Ensi yonna yeetegese okwaniriza omuzira. Nfuna amasimu okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo abantu nga bantegeeza ku ngeri gye beetegese okwaniriza Bobi era beesunga lwa nkya. Nyanzi bwe yabuuziddwa oba nga bakwataganye ne poliisi yazzeemu nti, “Gavumenti n’ebitongole byayo ebikuumi tubasaba ekintu kimu bawe abantu omukisa okwaniriza omwagalwa waabwe kubanga tetusuubirayo bamenyi ba mateeka” Yagasseeko nti: Pulezidenti Museveni bwe yali ava mu lukiiko lw’amawanga amagatte mu 2014 baamwaniriza; Seya (Haji Nasser Ntege Sebaggala) bwe yali akomawo naye baamwaniriza nnyo, Dr. Kiiza Besigye naye baamwaniriza ng’ava mu buwahhanguse mu 2005; olaba ne Gaetano Kaggwa naye baamwaniriza ng’ava mu Big Brother e South Afrika! Awo ffe we tubuuliza, Bobi Wine yazzizza musango ki okumugaana okwanirizibwa? BATADDEWO OBUKIIKO BUTAANO OKWANIRIZA BOBI WINE Aba People Power bataddewo obukiiko butaano okutegeka okwanirizibwa kwa Bobi Wine ne balabula abateekateeka okukola effujjo ku mikolo nti tebagenda kubakkiriza. Bataddewo akakiiko akakola ku kusaasaanya amawulire nga kakulirwa Omubaka Asuman Basalirwa owa Bugiri Municipality. Bagasseeko akakiiko akakola ku bayimbi n’okusanyusa abagenyi nga kakulirwa omuyimbi Dr. Hilderman, kw’ogatta akakiiko akakola ku byokwerinda, akakola ku bakungu ab’enjawulo wabula buno baagaanye okwogera ababukulira nga bagamba nti bagudde mu lukwe lwa poliisi okubayigga ebakwate. Eggulo bannakisinde baatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire ku Speke Hotel nga lwetabiddwaamu Samuel Lubega Mukaaku, Michael Mabikke, Sulaiman Kidandala Sserwadda, Moses Kataabu, Derick Mutema, Hilderman, William Ssebuwufu ne Abdul Karim Lukodda. Baalangiridde enteekateeka egenda okugobererwa nga batandikira ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe. “Agenda kutuuka ku ssaawa 4:00 ez’oku makya ku Lwokuna (enkya). Tutegese nga ku luguudo lwonna okutandikira e Ntebe okutuuka wakati mu kibuga abawagizi bagenda kumwaniriza mu ssanyu. Ku ssaawa 10:00 ez’olw’eggulo y’egenda okuba entikko y’emikolo n’ekitambiro kya mmisa mu kisaawe e Wampeewo era we wagenda okuba okwogera okutongole ku byonna by’ayiseemu.” Mabikke bwe yagambye. POLIISI EBALABUDDE Emilian Kayima omwogezi wa poliisi mu ggwanga yalambise nti: Uganda nsi etambulira ku mateeka era mulimu gwaffe nga poliisi okugakwasisa. Bwe wabaawo enteekateeka ey’enjawulo ekolebwa okwaniriza Bobi Wine, abakirimu batutegeeze mu budde tulabe eky’okukola bwe bataatutegeeze kiba kitegeeza tewali nteekateeka yonna gye tusuubira okubaawo era abaneetantala okugendayo bagende nga bakimanyi nti bali mu bumenyi bwa mateeka. For more #AGOMUMPAPULA click here - https://www.youtube.com/playlist?list... #RIPKirumira, #MuhammadKirumira, #TrendingUganda,#BebeCool,#FreeBobiwine,#Museveni, #Bobiwine, #PeoplePower_OurPower, #PeoplePowerOurPower, #KassianoWadri,#Chameleone, #Museveni, #bebecool,#Bobiwine, #Gossip, #Wolokoso, #Olugambo, #News, #Politics, #Uganda, #Kampala,#Arua
Abawagizi ba Bobi wine battunka ne poliisi ku by’okumwaniriza || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 26 Likes | 26 Dislikes |
| 3,169 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 19 Sep 2018 |
trending ugandan music
trending ugandan songs 2018
trending ugandan movies
trending ugandan music 2019
trending uganda youtube
trending ugandan music this week
trending uganda music 2018
trending uganda inside story
trending ugandan entertainment news
trending uganda youtube channel
trending ugandan gospel music
trending ugandan music 2018
trending ugandan celebrity news
trending ugandan videos
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan gossip
trending ugandan gospel songs
trending ugandan artists
trending ugandan hairstyles
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét