
ABAATEMULA Felix Kaweesi bwe baalabye ng’ebintu bitandise okutabuka, kigambibwa nti baasindise omuntu waabwe n’ayingira mu kitongole ekibanoonyerezaako ekya ISO. Ensonda mu ISO (Internal Security Organisation) zaategeezezza nti omusajja ono baamuzudde era ne bamukwata ng’agezaako okubba ezimu ku fayiro ezirimu obujulizi obw’enkizo. Mu kumukunya nga bamaze okumukwata baakizudde nti yakolerako ekimu ku bitongole by’ebyokwerinda era kiteeberezebwa nti omusajja ono yasindikiddwa abamu ku boofi isa ba poliisi be baakutte ku bigambibwa nti be baategeka olukwe lw’okutta Andrew Felix Kaweesi nga March 17, 2017. Engeri omusajja ono gye yayingidde mu ISO yabadde ya kikugu kubanga yasoose kulaga nti alina bingi by’amanyi ku baatemula Kaweesi era mwetegefu okubeera omujulizi mu musango guno. Yalaze nti ali mu kutya okw’amaanyi olwa boofi isa ba poliisi abamuyigga okumutta olw’obujulizi bw’alina. Omusajja ono bwe yakwatiddwa baasazeewo bamukuumire mu ISO era amannya gakyasirikiddwa kubanga bambega bagezaako okulaba bwe batuuka ku bantu abatuufu abaamutumye. Kigambibwa nti wadde abamu ku bateeberezebwa okwenyigira mu butemu buno omuli ne boofi isa ba poliisi baabakwata, wabula ISO erowooza nti wakyaliyo abalala bangi abaali bakola ne boofi isa bano abagezaako kyonna ekisoboka okutaasa boofi isa ku musango omunene ogubalindiridde. Omusajja ono nga kati bamwogerako ng’omuzigu, yasoose kukakasa nti batandise okumwesiga n’alyoka aluka pulaani ebba fayiro ya Kaweesi n’ebizibiti ebirala ebiri mu ISO. Baamukutte agezaako okubba fayiro n’ebizibiti mu ofi isi y’omu ku bakungu ba ISO anoonyereza ku musango gwa Kaweesi. Abantu ab’enjawulo bazze bakwatibwa ku by’okutta Kaweesi kyokka amaanyi ISO yagassa ku boofi isa ba poliisi naddala abaali mu Flying Squad. Mu be baakakwata kuliko Herbert Muhangi eyali aduumira Flying Squad, Moses Kasibante olumu eyeeyita Kasiba, Martin Kimbowa ne Abel Kitagenda. Kitagenda bwe yakwatibwa gye buvuddeko kyategeezebwa nti ye yakeera ewa Kaweesi ate munne Kimbowa ne kitegeezebwa nti waliwo obujulizi obulaga nti yavuga emu ku pikipiki ezaakozesebwa abatemu. Abanoonyereza bagamba nti balina omujulizi agamba nti yalaba Kitagenda mu kifo we battira Kaweesi. Kigambibwa nti waliwo enkiiko ezenjawulo ezaateesa ku kutta Kaweesi nga zituula ku woteeri e Lugogo. Olukiiko olwasembayo lwatuula ku Lwokuna nga March 16, olwo Kaweesi n’atemulwa enkeera. Kigambibwa nti muninkini wa Kaweesi, Christine Mbabazi Muhoza yali mu nkiiko zino era agenda kuba omu ku bajulizi mu musango guno. Mu kiseera kino akuumibwa magye mu maka ge e Lungujja. Mbabazi yasooka kwegaana bw’atalina ky’amanyi ku bya kutta Kaweesi. Kyokka ensonda mu ISO zaategeezezza nti bwe yalabye nga banne bwe baali babakutte n’akkiriza okuba omujulizi mu musango guno abalumirize. Kaweesi yatemulwa ne ddereeva we Godfrey Mambewa n’omukuumi Kenneth Erau era kigambibwa nti mu lukwe ne ddereeva yalimu. Mu pulaani abatemu gye baakola, Kaweesi yalina okuyimirizibwa omuntu gw’amanyi, kyokka bwe yandigaanye eby’okuyimirira, ddereeva yali ayingiziddwa mu lukwe ayimirire ng’ajeemera ebiragiro bya mukama we. Abajulizi ISO b’erina balaga nti Kaweesi bwe yayimirizibwa omuntu gwe yali amanyi obulungi, yayimirira awatali kwekengera kwonna era y’ensonga lwaki emmotoka ya Kaweesi yasangibwa mu kkubo wakati ng’esimbiddwa; so nga n’emipiira baali bagikubye amasasi! For more #AGOMUMPAPULA Click here -https://www.youtube.com/playlist?list... 🔥Stay updated! 🔔 Subscribe Now 🔥 https://www.youtube.com/c/trendinguganda 🔥
Abatta Kaweesi tebatudde, basindise omuzigu mu ISO || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 13 Likes | 13 Dislikes |
| 3,198 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 3 Jul 2018 |
trending uganda youtube channel
trending ugandan songs 2018
trending ugandan music 2018
trending ugandan music 2019
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan videos
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music
trending uganda music 2018
trending uganda youtube
trending uganda inside story
trending ugandan celebrity news
trending ugandan gossip
trending ugandan gospel songs
trending ugandan gospel music
trending ugandan music this week
trending ugandan movies
trending ugandan artists
trending ugandan hairstyles
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét