
ABADDE akulira poliisi y’e Kyebando- Kisalosalo mmotoka emukoonye n’emuttirawo, oluvannyuma n’edduka . ASP Francis Kato 30, ng’ono abadde amanyiddwa mu kulwanyisa ababbi n’abamenyi b’amateeka abalala mu kitundu ekyo, eyamukoonye yazzizza mmotoka emabega n’abulawo era nga nnamba ya mmotoka teyeetegerezeddwa. Akabanje kano kaabadde ku Nothern bypass okumpi n’e poliisi y’e Kyebando, ku ssaawa 12:00 ez’oku makya ku Lwokuna. Kato okutomerwa yabadde ava mu bikwekweto gye yasuze ng’akola era yabadde adda ku poliisi w’akolera naye aba asala ekkubo, mmotoka n’emukoona n’afi irawo. Omu ku baalabye akabenje kano nga kagwawo, Godfrey Ojumbo yagambye nti ekyabeewuunyisizza y’engeri omugoba wa mmotoka gye yaweseemu amangu nadda gy’ava mu bwangu obw’ekitalo ng’alabika ng’eyabadde alondoola omugenzi. Mmotoka eyasse Kato yabadde ya kika kya Mark II nga ya langi ya kikuusikuusi kyokka Ojumbo agamba nti ennamba yaayo yasobodde kwetegerezaako UAM yokka ng’endala zaamulemye okulaba olw’obwangu ddereeva waayo bwe yakozesezza okuwetamu n’adda gy’avudde. Kato yabadde atambulira ku bodaboda okutuuka we baamutomeredde era bwe yatuuse w’aviirako, kwe kusala okudda ku ludda okuli poliisi kyokka yabadde atuuka mu makkati g’oluguudo, mmotoka kwe kumukuba era olwagudde wansi teyazzeemu kwenyeenya. Abadduukirize baayanguye okutuuka ku Kato gwe baategedde oluvannyuma nti musirikale olwa yunifoomu n’ekikooti kya poliisi bye yabaddemu ne bategeeza mangu baserikale banne abaabadde ku poliisi y’e Kyebando gy’abadde akulira. Abaserikale baayanguye okujja ne bayoolayoola munnaabwe ne bamuteeka ku kabangali ya poliisi okumutwala e Mulago kyokka ono okumuggya mu kifo kino we baamukoonedde yabadde yafudde dda olwa mmotoka eyamukoonye n’amaanyi. Kato okujja e Kyebando yaggyibwa Katosi mu Mukono n’asooka atwalibwa ku poliisi ya Kira Road, gy’abadde yakaggyibwa emyezi ena egiyise okutwalibwa ku poliisi ya Kyebando Kisalosalo, gy’abadde yaggula olutalo ku lulwanyisa obubbi mu kitundu n’ebikolwa ebirala ebimenya amateeka. Wabula omugenzi yali yazimba Mukono ku kyalo Kigombya ebadde famire ye era ng’eno abadde agendangayo ku wiikendi. NNAMWANDU AYOGEDDE Muky. Jackline Akugizibewe yategeezezza nti yayogedde ne bba ku ssaawa 5:00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwokuna, n’amutegeeza nti yabadde ali mu kusaba nti kyokka yabadde teyeewulira bulungi mu mubiri. Nnamwandu agattako nti bba yamutegeezezza nti yabadde ayombye ne muganda we eyategeerekeseeko erinnya erimu erya Happy olw’okugaana okumusasula ssente ze ze yamuwola obukadde 15 era n’amutiisatiisa n’okumutuusaako obulabe ssinga talekera awo kumubanja. Nnamwandu alumiriza nti akabenje akasse bba kaabadde kapange olw’ebibaddewo era nga kino ayongera okukiggumiza olw’engeri omuntu eyasse omugenzi gye yaweseemu mmotoka mu bwangu n’adduka ng’alinga alaga nti omulimu yabadde agumalirizza. Omugenzi alese nnamwandu ali lubuto era ng’amulese n’omwana omuto. Kato waaziikibwa Kyenjojo ku Lwomukaaga kyokka ng’olumbe lwakumiddwa mu maka ga kitaawe w’omugenzi agasangibwa e Kirinnya- Bweyogerere. ABANENE ABAZZE BATOMERWA MMOTOKA Omugagga Eria Bugembe Kasiwuukira yatomerwa mmotokaokumpi n’amaka ge e Kabalagala- Muyenga bwe yali akola dduyiro nga kigambibwa nti akabenje kaalimu ab’awaka era mulamu we yatwalibwa mu kkooti n’asingisibwa omusango gw’okukola olukwe olwatta omugenzi n’asibwa. Omugagga omulala eyatomerwa mmotoka yali Bbombokka ow’e Kkonge, eyali muliraanwa wa Dr. Aggrey Kiyingi, mmotoka yamuttira Lugogo ng’asala ekkubo bwe yali ava mu kifo awoolezebwa mmotoka okudda e Kampala, oluvannyuma addeyo ng’emmotoka ye emaze okwozebwa
Abatemu batemudde Francis Kato OC wa Poliisi ye Kyebando || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 5 Likes | 5 Dislikes |
| 1,046 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 18 May 2018 |
trending uganda music 2018
trending ugandan music this week
trending ugandan movies
trending ugandan entertainment news
trending ugandan celebrity news
trending ugandan gospel music
trending ugandan music
trending ugandan music 2019
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda youtube
trending ugandan hairstyles
trending ugandan songs 2018
trending ugandan videos
trending uganda youtube channel
trending ugandan artists
trending uganda inside story
trending ugandan music 2018
trending ugandan gospel songs
trending ugandan gossip
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét