
ABASUMBA b’abalokole beetemyemu ku kwanjula kw’omubaka Judith Babirye (mukazi Buikwe) abamu ne bamuwagira abalala ne bategeeza nga bwe bataamanya ku bufumbo bwe obwasooka nga ne buno tebabumanyi ate abalala ne bategeeza nti tebibakwatako. Babirye agenda kwanjula mubaka munne, Paul Musoke (wa Munisipaali y’e Njeru mu Buikwe) ku Lwomukaaga mu kifo ekitannamanyika ku luguudo lw’e Ntebe oluvannyuma lw’omukolo guno okuggyibwa mu maka ga kitaawe, Ssaalongo Henry Mukooza e Nyenga mu Buikwe. Wilson Bugembe ow’ekkanisa ya Light your world e Nansana; Yasoose kutya kwogera ku nsonga eno ng’agamba nti kiyinza okumulabisa obubi eri abagole ng’ate bombi mikwano gye. Oluvannyuma yagambye nti, abaagaliza buwanguzi mu bufumbo bwe bagenda okutandikako era ku luno essaala ye agisindika eri Mukama ng’amusaba Babirye awangule obufumbo buno buleme kubeera ng’obwasooka. Yategeezezza nti ku luli ebyamulemesa tewali amunenya kubanga yabutandika muwala muto naye kati muntu mukulu atayinza kugamba nti kino oba kiri abadde takimanyi. Omutume Alex Mitala ow’ekibiina kya National Fellowship of Born Again Christians, yategeezezza nti, ye talina ky’amanyi ku bya Babirye oba akola mikolo gye akole. Kwe kusaba omusasi eyamukubidde essimu ng’amusaba obubaka bwe ku mukolo ogwo, amuleke kubanga Babirye tamusumbangako. Yagasseeko nti “ate oba n’obufumbo bwe obwasooka nabwo nali sirina kye mbumanyiiko na buno era kye kimu awo nze nsobola kumwogerako ki! Tekirina we kinkwatirako”, Mitala bwe yagambye. David Kiganda owa Christianity Focus Center mu Kisenyi; Yagambye nti; “Nze eby’okwanjula okwo sibimanyi. Naye bw’oba oyagala nze musibirire entanda, sooka omukubire essimu (Babirye) omugambe ankubire simu abimpitiremu ndyoke mbeeko kye njogera.” OBUFUMBO BWA BABIRYE OBWASOOKA; Obufumbo bwa Babirye ne Sameul Niiwo bwe baayingiramu mu 2004 lwe baafumbiriganwa bwasaziddwaamu kkooti gye buvuddeko ne bakkaanya Babirye ayawukane ne Niiwo gwe yawaabira mu kkooti olw’obutambuze, okwasanguzanga ebyama by’amaka gaabwe n’ebirala ebyawalirizza omulamuzi akola ku nsonga z’amaka, Percy Tuhaise okubagattulula. Omwana waabwe omuwala, Nana Mulungi Li’annoited ow’emyaka 11 agenda kubeera na Babirye era bakkaanyiza Babirye obutatwala kintu kyonna ekya Niiwo. Waliwo Nnaalongo Lukiya Ntale eyavaayo gye buvuddeko n’agamba nti ye mukazi wa Musoke omutuufu n’alajanira Babirye amulekere bba bakuze abaana naye teyaddiddwaamu For more click here - https://www.youtube.com/playlist?list...
ABASUMBA b’abalokole beetemyemu ku kwanjula kwa Judith Babirye || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 3 Likes | 3 Dislikes |
| 935 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 26 Jul 2018 |
trending ugandan songs 2018
trending ugandan mp3 songs
trending uganda youtube
trending uganda inside story
trending ugandan music
trending ugandan hairstyles
trending ugandan music 2019
trending uganda music 2018
trending ugandan gossip
trending ugandan celebrity news
trending ugandan music 2018
trending ugandan entertainment news
trending ugandan movies
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan gospel music
trending uganda youtube channel
trending ugandan videos
trending ugandan artists
trending ugandan music this week
trending ugandan gospel songs
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét