
Olwo zaabadde ssaawa 7:00 ez’ekiro mu bitundu by’e Lungujja. Agamba nti yabadde anoonya kyakulya ng’ava mu saluuni okumusala enviiri. Olwazze engulu n’akubira maneja we Geoffrey Kayemba eyamututte mu ddwaaliro e Mengo ne bamukolako n’oluvannyuma n’agenda ku poliisi y’oku Lubiri n’aggulawo omusango gw’okukubwa abantu babiri abaabadde ku bodaboda ne babba ne mmotoka ye ku fayiro nnamba SD REF: 03/08/05/2018. Yagenze ne ku CPS n’aggulawo omusango gwe gumu ku fayiro nnamba 02/08/05/2018. Chris Evans eggulo yazzeeyo mu ddwaaliro e Mengo, Dr. Kisembo Nnaalongo n’akola lipoota nga bamaze okumukuba ebifaananyi ku mutwe eyalaze nti ekiwanga, obwongo n’ebitundu ebirala biramu wadde yafunye obulumi ne bamulagira obutaddamu kwogerera ku ssimu okutuusa ng’ateredde. Chris Evans yabadde n’ebiwundu ku mutwe nga bisibiddwako ‘bandegi’. Ebirala byabadde ku bigere, mu kiwato, ku kibegabega ne ku ngalo. Chris Evans abeera e Mutundwe yategeezezza nti yabadde avuga mmotoka ye n’alaba aba bodaboda nga bamugoberera. Yabeekengedde n’asiba mmotoka okulaba oba banaamuyitako kyokka nabo ne basiba. Bwe yazzeemu okuvuga yayingidde ekikomera ky’omuntu ekitaliiko ggeeti abuzeebuze nti atuuse awaka kyokka ne bamulemerako. Yagezezzaako okukuba enduulu kyokka nga yeesibidde mu mmotoka ekitegeeza nti tewali yamuwulidde ekyaleetedde ababbi okukuba endabirwamu n’eyiika ne bamukuba ennyondo ku mutwe ne bamusikamu ne bamusuula ebweru. Baagisimbudde ne bagezaako okugitwala n’asituka okubagoba nga bw’akuba enduulu ekyabanyiizizza ne bayimirira ne badda ne bamwongera okumukuba. MANEJA AYOGEDDE Kayemba yategeezezza nti bwe baavudde mu ddwaaliro baasibidde ku poliisi y’oku Lubiri ne baggulawo omusango ku bantu abatannaba kutegeerekeka n’okumubbako mmotoka ye ey’ekika kya Wish nnamba UAZ 399J. Yategeezezza nti mmotoka yazuuliddwa ku makya ng’esuuliddwa mu Kabawo - Mutundwe kyokka nga bagisokoddemu ebyuma ebimu. Wabula abantu baasigadde beebuuza engeri omuyimbi abeera e Mutundwe ate n’anona ebyokulya e Lungujja. Chris Evans yagambye nti e Lungujja gye bamusalira enviiri. Omuyimbi ono talina mukazi okuva lwe yatabuka n’eyali muninkiniwe Jamira Kalungi era awaka yasangiddwawo yekka nga yeebase. Bino we bijjidde nga n’omuyimbi omulala, Moze Radio baakamukuba n’afa nga February 1, 2018 mu bbaala ya De bar e Ntebe era ateeberezebwa okumukuba, Godfrey Wamala Troy akyali mu kkomera. ABAYIMBI ABALALA ABAZZE BAKUBWA N’OKUTTIBWA AK 47: Yakubwa kanyama mu bbaala e Kabalagala n’abulawo wabula AK n’afa mu March wa 2015 mu ddwaaliro e Nsambya. Sara Nampijja eyali amanyiddwa nga Sera yafa mu ngeri etategeerekeka. Dans Kumapeesa Puloduusa w’ennyimba yakubwa bakifeesi e Makindye n’afa nga wayise akabanga. Omuyimbi Master Blaster Omusudani yamukuba essasi n’afi irawo. Dizzy Nuts: Yali muyimbi wa Bebe Cool mmotoka n’emutomerera e Kireka abantu ne bagamba nti eyamutta yakikola mu bugenderevu. Bebe Cool: Yakubwa amasasi ku Centenary Park. Yajjanjabwa n’awona kyokka gye buvuddeko yafunye ssente okuva mu Gavumenti ez’engassi bwe yagiwawaabira mu kkooti. For more click here - https://www.youtube.com/playlist?list...
Abasawo bagaanyi Chris Evans okuddamu okwogerera ku ssimu || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 12 Likes | 12 Dislikes |
| 2,564 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 9 May 2018 |
trending uganda inside story
trending ugandan artists
trending ugandan gossip
trending ugandan hairstyles
trending ugandan celebrity news
trending ugandan songs 2018
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music 2019
trending ugandan music
trending ugandan gospel music
trending ugandan music this week
trending uganda youtube channel
trending ugandan gospel songs
trending uganda music 2018
trending ugandan videos
trending uganda youtube
trending ugandan music 2018
trending ugandan movies
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan celebrity gossip
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét