
SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti ababaka abeetaaga obukuumi obw’enjawulo ba ddembe okubusaba gavumenti oluvannyuma lw’akakiiko akaddukanya emirimu gya palamenti (parliamentary commission) okukkiriza entegeka zino zigende maaso. ‘’Akakiiko akaddukanya emirimu gya palamenti kaatudde ku Mmande ne kakubaganya ebirowoozo ku by’okwerinda by’ababaka era ne kakiriza abaagala obukuumi buno okubusaba minisita w’obutebenkevu bw’eggwanga,’' Kadaga bwe yategeezezza Palamenti. Kino kyaddiridde omubaka Willian Nzoghu ava mu Busongora North e Kasese okutegeeza nti waliwo abantu abamugoberera b’atategeera n’asaba minisita w’obutebenkevu bw’eggwanga okumuwa obukuumi. Ettemu terisosodde bantu ba bulijjo, banene mu poliisi, mu kitongole ekiramuzi, abasuubuzi, bannabyabufuzi n’abalala. Eyali omubaka w’ekibuga Arua Col. Ibrahim Abriga y’omu ku bannabyabufuzi abasooka okutemulwa era naye yasooka kwemulugunya nti alina abamulondoola n’atafibwako. Mu biseera bya ‘Togikwatako’ ababaka naddala aba NRM abakirizza okukyusa Konsityusoni eggyibwemu ekkomo ku myaka gy’obukulu 75 eri abaagala Obwapulezidenti baasaba gavumenti obukuumi olw’okutiisibwa okwali kubakolebwa abatakiwagira. Pulezidenti Museveni yabasuubizza okubawa abajaasi bamutasubwa babawerekereranga ku kabangali kyokka ate ab’oludda oluvuganya ne bakiwakanya nga bagamba nti ssi kya bwenkanya gavumenti ekuume abantu bonna ababulijjo n’abanene lumu. For more #BINSANGAWANO click here https://www.youtube.com/playlist?list... #Bobiwine, #Uganda #WinnieKiiza, #Kayihura, #EnockBuntu,#Museveni, #bebecool,#Bobiwine, #Trending, #TrendingUganda, #Gossip, #Wolokoso, #Olugambo, #News, #Politics, #Uganda, #Kampala Ab’oludda oluvuganya baagamba nti obukuumi tebabwagala era oluvannyuma lw’okukayana gavumenti n’ebiggyamu enta.
Ababaka ba NRM bali ku bunkenke basabye Museveni obukuumi, batidde okufa nga Kirumira - YouTube |
| 30 Likes | 30 Dislikes |
| 5,722 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 13 Sep 2018 |
trending ugandan gossip
trending uganda inside story
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music 2019
trending uganda youtube
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan songs 2018
trending ugandan videos
trending uganda music 2018
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan gospel music
trending ugandan artists
trending ugandan music 2018
trending ugandan celebrity news
trending ugandan music
trending ugandan gospel songs
trending ugandan movies
trending ugandan music this week
trending ugandan hairstyles
trending uganda youtube channel
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét