
For more Gossip click here - https://www.youtube.com/playlist?list... ABAANA b’omuyimbi Paul Kafeero bateekateeka kuziikula kitaabwe aggyibweko obutaffaali abaana bonna bakeberebwe kimalewo obutakkaanya nga waliwo abalumiriza bannaabwe obutazaalibwa muyimbi ono. Obuzibu bwavudde ku baana b’omugenzi abamu okutunda ennyumba ya kitaabwe ey’e Kajjansi ku luguudo lw’e Ntebe abamu kye batakkiriza ekyawalirizza abakkaanyizza nakyo okulangira abaakiwakanya nga bwe batali baana ba Kafeero ne basalawo bakeberebwe omusaayi (DNA). Abaana abaakulembeddwa Martin Kafeero eyategeezezza nti ye musika, Mark Kafeero ne Tonny Kafeero balumiriza bakulu baabwe okuli; Simon Peter Kafeero, Swazinigga Kafeero, Kafeero Dube ne Nagawa okutunda ennyumba ya kitaabwe nga tebasoose kukkaanya nabo. Abasatu bano baasangiddwa mu maka ga Kafeero e Kajjansi ne bategeezezza nti bannaabwe beekobaana n’abakuza, bamaama baabwe n’abakulu abalala ne bateesa okutunda ennyumba bagabane ssente kyokka bo (abasatu) bwe baagaana okukkaanya nabo ne basalawo babatwale bakebwerebwe omusaayi nga babalumiriza nti Kafeero si y’abazaala. Abasatu baagaana okukeberebwa nga bagamba nti abaali baagala okutunda, baalina ekkobaane n’abagenda okubakebera bakyuse ebinaavaamu. Kyokka abakkiriza okukebera ebyavaamu byalaga nti ku baana 15 Kafeero be yaleka abaana bana bokka nga be bakkiriza okutunda ennyumba. Abasatu abaagaana okukeberebwa bagamba nti kikafuuwe okutwala ennyumba yaabwe we baakulira mu lukujjukujju nga eyeeyita omusika si ye yalondebwa. Martin Kafeero yategeezezza nti, Simon Kafeero olwamala okufuna ssente obukadde 80 ku 150 bwe bakkaanya n’abaguzi, yabulawo nga kati bateebereza ali South Afrika, Kenya oba Canada. Martin Kafeero agamba nti ye musika omutuufu nti jjajjaawe, Nanganga eyali taata wa Kafeero mu kwabya olumbe gwe yalaga ne bamusumikira wadde kitaaabwe teyaleka kiraamo. Engeri gye baakeberebwa Abooluganda bano baakeberebwa ng’abafaanagana omusaayi be batwala okubeera abooluganda. Abaalina omusaayi ogw’enjawulo be bagamba nti si baana ba Kafeero. Kino abaana kwe basinziira okusaba baziikule kitaabwe bamuggyeko obutaffaali babakebere bazuule ekituufu. Ennyumba eno eya maka, eri mu kikomera, eriko n’ennyumba z’emizigo emirala mukaaga egy’abapangisa n’emizigo gy’amaduuka emirala etaano ate w’eri kumpi nnyo ne tawuni y’e Kajjansi. Ku nnyumba eno, waasangiddwaawo omusajja Bilal Mukiibi eyagambye nti y’omu ku baagula ennyumba eno. Yagambye nti abaana baagenda okubagyako omusaayi nga baagala balabe oba be bagenda okugulako batuufu lwakuba abamu baagaana. Nti omu ku baana (Martin) yagaana okumuggyako omusaayi ate era y’akulembedde abakaayana nti ye Mukiibi ne banne baagula mpewo. Kyokka yagambye nti talina buzibu na baana abo kasita banakkiriza okubagyako omusaayi buli gw’anaalaba nga mutuufu wa Kafeero, bajja kukolagana naye ku by’ennyumba ezo. Yagaanyi okwogera ssente ze baagulawo wabula n’agamba nti baaguzeewo mwaka guno oluvannyuma lw’okulaba nga babbulooka balanga ennyumba eno ne bagigula.
Abaana b’omuyimbi Paul Kafeero baagala kuziikula kitaabwe - YouTube |
| 4 Likes | 4 Dislikes |
| 778 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePremiered on 15 Jun 2019 |
trending ugandan movies
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan music
trending uganda inside story
trending ugandan videos
trending uganda youtube channel
trending ugandan gossip
trending ugandan hairstyles
trending ugandan music 2019
trending ugandan songs 2018
trending ugandan artists
trending ugandan gospel music
trending ugandan celebrity news
trending ugandan entertainment news
trending ugandan gospel songs
trending ugandan music 2018
trending uganda youtube
trending ugandan music this week
trending uganda music 2018
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét